BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Uganda

image

Wednesday, December 6th, 2017

Mengo eri mu ndagaano ne NRM n’abasuubuzi ku by’omupiira mu Buganda, egy’ebika gyandifa kummibwa ssente

Nga 17 November 2017, Omumyuuka wa president wa Uganda, Mw. Edward Sekandi yeyali omugenyi omukulu ku mukolo ogw’okuggulawo enteekateeka y’okulakulanya omuzannyo gw’omupiira mu Buganda (Buganda Football Strategic Plan). Ensonda ezesigibwa mu Bulange zategezezza BugandaWatch nti gavumenti ya NRM yeyalagira omukolo guno gubeere mu Serena Kampala Hotel, mu Kampala, so ssi e Mengo. Kinajjukirwa nti nannyini Serena ye muyindi ow’ekiwayi kya

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, December 3rd, 2017

Mengo ekyelemye okusasula ebika ebyetaba mu mpaka z’akamalirizo ez’omupiira gw’ebika bya Baganda

Ekitongole ky’ebyemizannyo e Mengo, n’okutuuka leero kikyagaanyi okusasula ensako z’ebika 2 ebyasamba omupiira ogw’akamalirizo mu mpaka z’Ebika bya Baganda (Bika bya Baganda Football Tournament). Omupiira guno gwasambibwa nga 25 November 2017, e Bukalasa mu Bulemeezi. Ente yawangula Effumbe ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, November 27th, 2017

Mayiga atonedde gavumenti ya NRM obukadde 200, wadde Mengo tekyasobola kusasula mabanja

Nga 24 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yazeemu nate okujja ssente mu ggwanika lya Buganda nazigabira gavumenti ya Uganda. Yazitonedde ekitongole ky’eby’obulamu ekiyitibwa Central Public Health Laboratory. Mengo ne gavumenti ya NRM bagambye...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 26th, 2017

Ente yazzemu okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika mu maaso ga Kabaka, ssente Mengo zeyakugaanyizza zabiddwa

Ku lwa 25 November, 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Muwenda Mutebi II, yalabise ku mukolo  gw’empaka z’omupiira gw’Ebika bya Baganda ez’akamalirizo (finals). Empaka zino zabadde Bukalasa mu Bulemeezi. Ekika ky’Ente kye kyawangudde nga kikubye eky’Effumbe goolo 1 ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 25th, 2017

Abasomesa n’abakozi ba Muteesa I Royal University baafunye kyebayagala, Vice Chancellor yamuzibbwa

Ku lwa 21 November 2017, abasomesa, abakozi n’abayizi ba Muteesa I Royal University (MRU) baafuna amawulire amatongole nti Prof. Arthur Serwanga, abadde Vice Chancellor, yawumuzibbwa. Era nga Dr. Umar Ahmed Kasule, abadde yakegatta ku MRU okumala emyezi mitono...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, November 21st, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda

Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga ne kumulimu nsinga kukola nga nnyimiridde. Anti nga buli lwetuula mpulira obulumi, naye okuyimirira kugukakkanyiza ddala. Bulijjo nkuvunaana okukaabakaaba naye nage kuluno nze nkikoze. Wabula kansubire mwe muli...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 18th, 2017

Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna

Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye ku ttabi lya univasite eno ery’eKakeeka Mengo nga 17  November 2017. Mu nsisinkano eno, bakkaanyizza okudda ku mirimu gyabwe nga 2 December 2017, ng’olukiiko olutwala university bwelwategeeza,  singa...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, November 14th, 2017

Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente

Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti omulimu gw’okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, ogubadde ogutambula bulungi, ate gwazeemu okwesiba. Kino nga kyabaddewo oluvannyuma lw’akulira omulimu guno, Mw. Jonathan Nsubuga, okusindika abakozi...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 12th, 2017

Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu

Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yakulira omukolo ogw’okukyusa obakulembeze ba Nkobazambogo Uganda, ekibiina Mengo kyeyatondawo okudibya ekya Baganda Nkoba za Mbogo Students Association (BANKOSA), oluvannyuma lw’ekiba ttaka n’okusiba Kabaka emimmwa (Mengo kyeyatuuma MOU)...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 11th, 2017

Obubaka bwa Kabaka ku lunaku lw’abavubuka bubanja eby’okulabirako ebirungi e Mengo

Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II yetabye ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Omukolo guno gwabaddewo nga 10 November, 2017 e Mukono, ku mbuga y’Essaza ly’eKyaggwe. Omukolo gwetabiddwako Abataka abakulu abobusolya, Namasole, Abaami ab’amasaza, ba Minisita, bannadiini,...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 36 1 2 3 4 5 6 36