BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

mayiga

image

Wednesday, December 6th, 2017

Mengo eri mu ndagaano ne NRM n’abasuubuzi ku by’omupiira mu Buganda, egy’ebika gyandifa kummibwa ssente

Nga 17 November 2017, Omumyuuka wa president wa Uganda, Mw. Edward Sekandi yeyali omugenyi omukulu ku mukolo ogw’okuggulawo enteekateeka y’okulakulanya omuzannyo gw’omupiira mu Buganda (Buganda Football Strategic Plan). Ensonda ezesigibwa mu Bulange zategezezza BugandaWatch nti gavumenti ya NRM yeyalagira omukolo guno gubeere mu Serena Kampala Hotel, mu Kampala, so ssi e Mengo. Kinajjukirwa nti nannyini Serena ye muyindi ow’ekiwayi kya

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, November 27th, 2017

Mayiga atonedde gavumenti ya NRM obukadde 200, wadde Mengo tekyasobola kusasula mabanja

Nga 24 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yazeemu nate okujja ssente mu ggwanika lya Buganda nazigabira gavumenti ya Uganda. Yazitonedde ekitongole ky’eby’obulamu ekiyitibwa Central Public Health Laboratory. Mengo ne gavumenti ya NRM bagambye...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, November 21st, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda

Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga ne kumulimu nsinga kukola nga nnyimiridde. Anti nga buli lwetuula mpulira obulumi, naye okuyimirira kugukakkanyiza ddala. Bulijjo nkuvunaana okukaabakaaba naye nage kuluno nze nkikoze. Wabula kansubire mwe muli...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, November 14th, 2017

Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente

Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti omulimu gw’okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, ogubadde ogutambula bulungi, ate gwazeemu okwesiba. Kino nga kyabaddewo oluvannyuma lw’akulira omulimu guno, Mw. Jonathan Nsubuga, okusindika abakozi...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 12th, 2017

Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu

Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yakulira omukolo ogw’okukyusa obakulembeze ba Nkobazambogo Uganda, ekibiina Mengo kyeyatondawo okudibya ekya Baganda Nkoba za Mbogo Students Association (BANKOSA), oluvannyuma lw’ekiba ttaka n’okusiba Kabaka emimmwa (Mengo kyeyatuuma MOU)...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 11th, 2017

Obubaka bwa Kabaka ku lunaku lw’abavubuka bubanja eby’okulabirako ebirungi e Mengo

Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II yetabye ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Omukolo guno gwabaddewo nga 10 November, 2017 e Mukono, ku mbuga y’Essaza ly’eKyaggwe. Omukolo gwetabiddwako Abataka abakulu abobusolya, Namasole, Abaami ab’amasaza, ba Minisita, bannadiini,...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 4th, 2017

Katikkiro ali wakati mu lukwe lwa Civil Aviation Authority okubba ettaka lya Mmamba Kakoboza, ekika kya Baganda

Waliwo obujulizi obuwandiike nga busonga mu Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, nga ali wakati mu lukwe lwa gavumenti ya NRM okubba ettaka ly’Abaganda ab’ekika kya Mmamba Kakoboza e Ntebbe mu Busiro. Obujulizi buno BugandaWatch ebusanze mu kunoonyereza...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Thursday, October 26th, 2017

Muteesa I Royal University yagaddwa, emitima gya Baganda gyewanise

Yunivasite y’Obwakabaka bwa Buganda,  Muteesa I Royal University (MRU), yagadwaawo nga 25 October 2017, ekiretedde emitima gy’Abaganda bangi okwewanika. Okusinziira ku kusalawo kw’okukiiko oluddukanya MRU, olukulemberwa Dr. Frank Sebbowa, ettabi erye Kakeeka, Mengo mu Kyaddondo lyagaddwa nga 24 October,...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, October 11th, 2017

Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka

Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, kisoboka okuba nti omwaka gwa 2017 wegunagweerako ng’okusiba ebizizi mu Muzibu Azaala Mpanga kuwedde. Olwo nga enju esigadde kusereka, okusuubirwa okudduka amangu....

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, October 4th, 2017

Ekya Catalonia okwekutula ku Spain kyandyongera amaanyi mu kisinde ky’Obuganda Obw’Enkya

Mu nsi ya Spain, abasibuka mu ekitundu kye Catalonia bali mu ssanyu eritagambika, oluvannyuma lw’ akalulu ak’ekikungo, okusalawo oba betongola, bafuuke eggwanga eryetengeredde. Akalulu kano akabaddewo nga 1 October 2017 kagenze okuggwa nga ebitundu 90% basazeewo nti beekutule ku Spain. Gavumenti ya Spain yafubye nnyo okulemesa nga ekozesa poliisi, omwavudde akasambattuko...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 16 1 2 3 4 5 6 16