BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

People

image

Sunday, December 3rd, 2017

Mengo ekyelemye okusasula ebika ebyetaba mu mpaka z’akamalirizo ez’omupiira gw’ebika bya Baganda

Ekitongole ky’ebyemizannyo e Mengo, n’okutuuka leero kikyagaanyi okusasula ensako z’ebika 2 ebyasamba omupiira ogw’akamalirizo mu mpaka z’Ebika bya Baganda (Bika bya Baganda Football Tournament). Omupiira guno gwasambibwa nga 25 November 2017, e Bukalasa mu Bulemeezi. Ente yawangula Effumbe ku goolo 1 – 0 mu maaso ga Ssaabasajja. Ebika byombi byalina okusasulwa olw’okwetaba mu mpaka zino. Oluvannyuma lw’omupiira okuggwa,

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, November 27th, 2017

Mayiga atonedde gavumenti ya NRM obukadde 200, wadde Mengo tekyasobola kusasula mabanja

Nga 24 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yazeemu nate okujja ssente mu ggwanika lya Buganda nazigabira gavumenti ya Uganda. Yazitonedde ekitongole ky’eby’obulamu ekiyitibwa Central Public Health Laboratory. Mengo ne gavumenti ya NRM bagambye...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 26th, 2017

Ente yazzemu okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika mu maaso ga Kabaka, ssente Mengo zeyakugaanyizza zabiddwa

Ku lwa 25 November, 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Muwenda Mutebi II, yalabise ku mukolo  gw’empaka z’omupiira gw’Ebika bya Baganda ez’akamalirizo (finals). Empaka zino zabadde Bukalasa mu Bulemeezi. Ekika ky’Ente kye kyawangudde nga kikubye eky’Effumbe goolo 1 ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 25th, 2017

Abasomesa n’abakozi ba Muteesa I Royal University baafunye kyebayagala, Vice Chancellor yamuzibbwa

Ku lwa 21 November 2017, abasomesa, abakozi n’abayizi ba Muteesa I Royal University (MRU) baafuna amawulire amatongole nti Prof. Arthur Serwanga, abadde Vice Chancellor, yawumuzibbwa. Era nga Dr. Umar Ahmed Kasule, abadde yakegatta ku MRU okumala emyezi mitono...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 18th, 2017

Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna

Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye ku ttabi lya univasite eno ery’eKakeeka Mengo nga 17  November 2017. Mu nsisinkano eno, bakkaanyizza okudda ku mirimu gyabwe nga 2 December 2017, ng’olukiiko olutwala university bwelwategeeza,  singa...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, November 14th, 2017

Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente

Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti omulimu gw’okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, ogubadde ogutambula bulungi, ate gwazeemu okwesiba. Kino nga kyabaddewo oluvannyuma lw’akulira omulimu guno, Mw. Jonathan Nsubuga, okusindika abakozi...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 12th, 2017

Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu

Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yakulira omukolo ogw’okukyusa obakulembeze ba Nkobazambogo Uganda, ekibiina Mengo kyeyatondawo okudibya ekya Baganda Nkoba za Mbogo Students Association (BANKOSA), oluvannyuma lw’ekiba ttaka n’okusiba Kabaka emimmwa (Mengo kyeyatuuma MOU)...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 4th, 2017

Katikkiro ali wakati mu lukwe lwa Civil Aviation Authority okubba ettaka lya Mmamba Kakoboza, ekika kya Baganda

Waliwo obujulizi obuwandiike nga busonga mu Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, nga ali wakati mu lukwe lwa gavumenti ya NRM okubba ettaka ly’Abaganda ab’ekika kya Mmamba Kakoboza e Ntebbe mu Busiro. Obujulizi buno BugandaWatch ebusanze mu kunoonyereza...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Friday, November 3rd, 2017

Kyanjo asibudde Nambooze, agenze Buyindi kumujjanjaba nkizi abatemu ba gavumenti ya NRM gyebamenya

Hajji Hussein Kyanjo y’omu ku babadde ku kisawe Entebbe okusiibula Muky. Betty Bakireke Nambooze, eyasitudde okugenda e Buyindi afune obujanjjabi, oluvanyuma lw’okusimatuuka abasirikale ba Uganda abaali bagezaako okumumenya enkizi. Nambooze yawonera watono okutemulirwa mu kizimbe kya palamenti...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Thursday, October 26th, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bobi Wine mwagala, naye ebyafaayo bya Uganda Robert Kyagulanyi byasomesa bikyaamu

Mwanyinaze Namayega, Nsuubira nti muli bulungi, okusiziira ku Kojja Lubwama bye yangamba ku Friday. Naffe tuli balamu era weekend ewedde nagendako e Pittsburgh okukyalira mukwanogwo. Yantwaala mu clinic ye era nnungi nnyo. Gyenafunira n’empiso egema flu (oba ye lubyamira?) eyansookera....

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 7 1 2 3 4 5 6 7