BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Events

image

Monday, February 12th, 2018

Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole

 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga ne minister akola ku nsonga z’Olukiiko lwa Buganda, Muky. Christine Mugerwa Kasule befunira ekifo mu byafaayo bya Buganda bwebafulumya kyebayita “ebiteeso ebiyisibbwa Olukiiko”, wadde nga olukiiko lwaali telubikubaganyizaako birowoozo. Omutaka omu, eyasabye ammanya ge gasirikirwe, yategezeezza BugandaWatch nga 15/2/2018 nti eky’abakungu be Mengo okuwayiriza Olukiiko lwa Buganda, yakoma kukiwulira

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, February 3rd, 2018

Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi

Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo amasiro ge Kasubi nga 21 December 2017, yeyama eri Obuganda gwaali gwakuggwa mu 2018. Wabula, kyeyasubiza kirabika ng’ekitasoboke kubanga BugandaWatch yafunye amawalire agesigika okuva e Kasubi nti abakozi ne...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, January 28th, 2018

K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa

Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu nsonda ezesigika mu Bulange, nga gategeeza nti Mengo eteekateeka okutunda omukutu gw’essimu ogwa K2 Telecom eri Airtel Telecom Company. Amawulire gano gazze nga K2 Telecom eri mu bizibu biyitirivu,...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, January 27th, 2018

Eyayamba Mayiga okulaga nti Mengo yawa Uganda obuyambi ku sickle cells avunaana Basajja ba Kabaka kumunyaga

Okubiliriza kwa BugandaWatch okwatandika mu July 2017, wadde tekunaggwa, naye kwazudde nti emikolo egyekitiibwa mu 2017 Katikkiro kweyatonera gavumenti ya Uganda obuyambi bw’okugula obuuma obukebera obulwadde bwa sickle cells, gyali gya kugumaaza na kubulankanyizaamu ssente za Buganda. Obujulizi...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, January 24th, 2018

Museveni awaana essomero lya David Kiwalabye, waliwo abatya nti omukulu wa BLB bali mu kinywi ne president wa Uganda

Nga 17 January 2018, president Museveni yakyaaza omukulu w’essomero n’omusomesa w’Okubala (Mathematics) okuva mu ssomero lya David Kiwalabye, Executive Director was Buganda Land Board, ery’obwanannyini. Okusinziira ku mukutu gwa Facebook ogw’essomero lino, eriyitibwa Gombe Junior School, Museveni...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, January 17th, 2018

Oluvannyuma lw’emyaka 3 ng’asisirise, Katikkiro JB Walusimbi avuddeyo, yeyamye okuwagira Baganda Nkoba za Mbogo

Nga 12 January 2018, Katikkiro wa Buganda eyawummula, Engr. John Baptist Walusimbi, yaguddewo olusirika lw’abavubuka ba Baganda Nkoba za Mbogo (BANKOSA) olwabadde  ku ssomero lya Buddo Christian Academy, e Buddo mu Busiro. Guno gwemulundi ogwasoose Engr. Walusimbi...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, January 3rd, 2018

Ekisakaate kya 2018 kitandise, Nnabagereka ayagala obuntu bulamu buzimbibwe mu mwana omuto

Nga 2 January 2018, abaana abasoba mu 600 baakedde kukungaanira Mengo okumpi ne Bulange awabadde omukolo ogw’okubasiibula nga bagenda okwetaba mu Kisaakaate kya 2018. Omwaka guno Ekisakaate kyakubeera ku ssomero lya Saint Joseph of Nazaleth e Mpigi mu Mawokota...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, January 1st, 2018

Grace Ssemakula obwa Ndugwa yabwejjeko, yavunaanye Bazzukulu kumwogerera nti akooye takyasobola

Nga 29 December 2017, Mw. Grace Ssemakula Musoke Kasepeewo, abadde amanyiddwa ng’omukulu w’ekika ky’Olugave okuva mu 1986, yalangilira nti alekulidde obwa Ndugwa. Ssemakula yategeeza abamu ku bakulu b’emituba mu kika ky’Olugave abaali mu lukungaana lwe yayita mu...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, December 27th, 2017

Amagye ga Museveni ku nnyimba za Mazaalibwa, ku luno tegalemesa Kabaka kwogera na kusaagamu na bantu be

Nga 22 December 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Mutebi yalabika ku mukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu ogwaali mu mu bimuli bya Bulange e Mengo, Kyaddondo. Obutafanaana na mikolo Kabaka kwabadde alabika, kati kumala myaka, ku luno Omutanda yasobola okubeera...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, December 19th, 2017

Ekya Gabunga okwabiza Omunyalwanda olumbe waliwo abe Mmamba bekitabudde

Ku lwa 17 December 2017 editor@BugandaWatch.com yafuna ebaluwa ya email ng’evumirira eky’omukulu wekika ky’Emmamba,  Gabunga Ziikwa, okwenyigira mu kwaabya olumbe lw’omusajja Omunyalwanda. Omusajja ebaluwa gweyogerako ye mugenzi Mathias Birekyeraho Nsubuga eyali owa DP ate nga  n’okwabya olumbe kwaliwo...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 14 1 2 3 4 5 6 14