BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Culture

image

Saturday, February 3rd, 2018

Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi

Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo amasiro ge Kasubi nga 21 December 2017, yeyama eri Obuganda gwaali gwakuggwa mu 2018. Wabula, kyeyasubiza kirabika ng’ekitasoboke kubanga BugandaWatch yafunye amawalire agesigika okuva e Kasubi nti abakozi ne kakati tebakola, bakeera kunyumya mboozi. Embeera eriwo e Kasubi Katikkiro yagikonako ng’ayogera mu Lukiiko lwa Buganda olwaliiwo nga 23 January

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, January 3rd, 2018

Ekisakaate kya 2018 kitandise, Nnabagereka ayagala obuntu bulamu buzimbibwe mu mwana omuto

Nga 2 January 2018, abaana abasoba mu 600 baakedde kukungaanira Mengo okumpi ne Bulange awabadde omukolo ogw’okubasiibula nga bagenda okwetaba mu Kisaakaate kya 2018. Omwaka guno Ekisakaate kyakubeera ku ssomero lya Saint Joseph of Nazaleth e Mpigi mu Mawokota...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, January 1st, 2018

Grace Ssemakula obwa Ndugwa yabwejjeko, yavunaanye Bazzukulu kumwogerera nti akooye takyasobola

Nga 29 December 2017, Mw. Grace Ssemakula Musoke Kasepeewo, abadde amanyiddwa ng’omukulu w’ekika ky’Olugave okuva mu 1986, yalangilira nti alekulidde obwa Ndugwa. Ssemakula yategeeza abamu ku bakulu b’emituba mu kika ky’Olugave abaali mu lukungaana lwe yayita mu...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, December 27th, 2017

Amagye ga Museveni ku nnyimba za Mazaalibwa, ku luno tegalemesa Kabaka kwogera na kusaagamu na bantu be

Nga 22 December 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Mutebi yalabika ku mukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu ogwaali mu mu bimuli bya Bulange e Mengo, Kyaddondo. Obutafanaana na mikolo Kabaka kwabadde alabika, kati kumala myaka, ku luno Omutanda yasobola okubeera...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, December 19th, 2017

Ekya Gabunga okwabiza Omunyalwanda olumbe waliwo abe Mmamba bekitabudde

Ku lwa 17 December 2017 editor@BugandaWatch.com yafuna ebaluwa ya email ng’evumirira eky’omukulu wekika ky’Emmamba,  Gabunga Ziikwa, okwenyigira mu kwaabya olumbe lw’omusajja Omunyalwanda. Omusajja ebaluwa gweyogerako ye mugenzi Mathias Birekyeraho Nsubuga eyali owa DP ate nga  n’okwabya olumbe kwaliwo...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, December 16th, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Katikkiro aveeyo, atangaaze Bukedde byeyayogera ku baana ba Kabaka

Mwanyinaze Namayega, Nsubiira muli bulungi. Munange naffe tuli wano tutandise okufuna omuzira gwa snow, era ntandise okubeera ennyo munda. Anti nga bwomanyi, empeewo si mukwaano gwange nakatono. Nga bwenakutegeeza emabegako, ekya mawulire ga Bukedde okufulumya kalonda akwata ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, December 6th, 2017

Mengo eri mu ndagaano ne NRM n’abasuubuzi ku by’omupiira mu Buganda, egy’ebika gyandifa kummibwa ssente

Nga 17 November 2017, Omumyuuka wa president wa Uganda, Mw. Edward Sekandi yeyali omugenyi omukulu ku mukolo ogw’okuggulawo enteekateeka y’okulakulanya omuzannyo gw’omupiira mu Buganda (Buganda Football Strategic Plan). Ensonda ezesigibwa mu Bulange zategezezza BugandaWatch nti gavumenti ya NRM yeyalagira omukolo...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, December 3rd, 2017

Mengo ekyelemye okusasula ebika ebyetaba mu mpaka z’akamalirizo ez’omupiira gw’ebika bya Baganda

Ekitongole ky’ebyemizannyo e Mengo, n’okutuuka leero kikyagaanyi okusasula ensako z’ebika 2 ebyasamba omupiira ogw’akamalirizo mu mpaka z’Ebika bya Baganda (Bika bya Baganda Football Tournament). Omupiira guno gwasambibwa nga 25 November 2017, e Bukalasa mu Bulemeezi. Ente yawangula Effumbe ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, November 26th, 2017

Ente yazzemu okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika mu maaso ga Kabaka, ssente Mengo zeyakugaanyizza zabiddwa

Ku lwa 25 November, 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Muwenda Mutebi II, yalabise ku mukolo  gw’empaka z’omupiira gw’Ebika bya Baganda ez’akamalirizo (finals). Empaka zino zabadde Bukalasa mu Bulemeezi. Ekika ky’Ente kye kyawangudde nga kikubye eky’Effumbe goolo 1 ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Saturday, November 25th, 2017

Abasomesa n’abakozi ba Muteesa I Royal University baafunye kyebayagala, Vice Chancellor yamuzibbwa

Ku lwa 21 November 2017, abasomesa, abakozi n’abayizi ba Muteesa I Royal University (MRU) baafuna amawulire amatongole nti Prof. Arthur Serwanga, abadde Vice Chancellor, yawumuzibbwa. Era nga Dr. Umar Ahmed Kasule, abadde yakegatta ku MRU okumala emyezi mitono...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 14 1 2 3 4 5 6 14