BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Author Archive

image

Thursday, October 19th, 2017

Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka

Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo, Owek. Apollo Nelson Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda olukulu olwatudde e Mengo nga 16 October, 2017 n’atangaaza ku tteeka ly’ettaka gavumenti ya NRM lyeyagala okuyisa . Etteeka lino liwa gavumenti ya Uganda obuyinza okutwala ettaka ly’omuntu okulikozesa nga tesoose kukaanya ne naye ku muwendo gw’ensimbi

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, October 15th, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962

Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe tubadde bulungi okujjako nti obudde butandikiriza okunyogoga mu matobotobo, era ka jacket sikyakaleka waka. Nga bwenasuubiza, kankuwe bwiino ku nsonga y’amefuga ga Buganda (Buganda Independence) n’amefuga ga Uganda (Uganda...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, October 11th, 2017

Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka

Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, kisoboka okuba nti omwaka gwa 2017 wegunagweerako ng’okusiba ebizizi mu Muzibu Azaala Mpanga kuwedde. Olwo nga enju esigadde kusereka, okusuubirwa okudduka amangu....

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, October 10th, 2017

Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza

Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze Joe Muyanja. Nsibuka Mukono, mu ssaza lye Kyaggwe era taata wange, jja wange, ne jjajja wa taata bonna bagenzi abagalamidde awo ebbanga ntono okuva olwe Bugerere welukoonera ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Wednesday, October 4th, 2017

Ekya Catalonia okwekutula ku Spain kyandyongera amaanyi mu kisinde ky’Obuganda Obw’Enkya

Mu nsi ya Spain, abasibuka mu ekitundu kye Catalonia bali mu ssanyu eritagambika, oluvannyuma lw’ akalulu ak’ekikungo, okusalawo oba betongola, bafuuke eggwanga eryetengeredde. Akalulu kano akabaddewo nga 1 October 2017 kagenze okuggwa nga ebitundu 90% basazeewo nti beekutule ku Spain. Gavumenti ya Spain yafubye nnyo okulemesa nga ekozesa poliisi, omwavudde akasambattuko...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Monday, October 2nd, 2017

Munamateeka Nsibambi alabudde minister Nankabirwa, ba MP bangi mu Buganda balimba si Baganda

Omu ku bannamateeka abakukuutivu mu Buganda, Omw. Yusuf Nsibambi yakyasanguzza nti bangi ku babaka b’olukiiko lwa Uganda (parliament) abakikirira ebitundu bya Buganda, balimba nti Baganda. So nga Banyarwanda abaasenseera Obuganda, nga beewa amannya n’ebika bya Baganda. Eby’okulabirako byeyawadde...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, October 1st, 2017

Nsamba omupya yayanjuddwa eri bataka banne, asigadde kwanjulwa eri Ssabataka era Kabaka

Omutaka omukulu w’Ekika ky’Engabi omuggya, Ssalongo Aloysius Kamoga Lukonge Magandaazi yayanjuddwa mu butongole eri Bataka banne abakulu ab’Obusolya mu Buganda, mu lukiiko olwatudde e Mengo nga  29 September 2017. Olukiiko lwakubirizibwa Omutaka Kayiira Gajuule ow’Embogo. Ssalongo Kamoga...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, September 26th, 2017

Omulimu gw’okuzaawo amasiro gukyatambula kasoobo, abakozi essira balitadde ku kwelimira mmere mu masiro

Amawulire agaakava e Kasubi Nabulagala mu masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda ssi malungi. Nga entabwe eva ku mulimu gw’okuzaawo Muzibu Azaala Mpanga okutambula akasoobo nate. Era nga kizzeewo kubanga abakozi abaziimbi obudde obusinga babumalira mu nnimiro zaabwe ku...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Tuesday, September 26th, 2017

Aba Nkoba za Mbogo baafunye abakulembeze abapya

Mutabani w’omumbejja era minisita wa Kabaka eyawummula, Owek. Sewava Sserubiri Walungama yeyabadde omugenyi omukulu ku mukolo  abayizi ba Baganda Nkobazambogo Students Association (BANKOSA), Eden High, Kasangati, mwebakyusirizza obukulembeze. Abayizi era babadde bajaguza emyaka 5 egya Nkobazambogo mu ssomero...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...

Sunday, September 24th, 2017

Ttabamiruka ’17: Nkalubo, Kigongo, Sserubiri, ne Nkoba za Mbogo baasosotola Obuganda O’bwenkya

Okuva nga 1 September 2017 okutuuka and 4 September 2016, Abaganda abaava mu USA, Canada, United Kingdom ne Buganda bakunganiira mu kabuga Princeton, nebatandika omulimu gwe baayita, Okutema Evvuunike ku Buganda O’bwenkya. Akabuga Princeton kali mu ssaza lya...

1 Star2 Stars3 Stars4 Stars5 Stars (No Ratings Yet)
Loading...
Page 1 of 41 1 2 3 4 5 6 41