BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo amasiro ge Kasubi nga 21 December 2017, yeyama eri Obuganda gwaali gwakuggwa mu 2018. Wabula, kyeyasubiza kirabika ng’ekitasoboke kubanga BugandaWatch yafunye amawalire agesigika okuva e Kasubi nti abakozi ne kakati tebakola, bakeera kunyumya mboozi.

Embeera eriwo e Kasubi Katikkiro yagikonako ng’ayogera mu Lukiiko lwa Buganda olwaliiwo nga 23 January 2018 bweyagamba nti, “Okuzaawo amasiro ge Kasubi bwekutaggwe mwaka guno, Abaganda bakimanye nti ensimbi zezinaaba zibuze”. Wabula teyategeeza Lukiiko makubo ki geyali ategeka kuzinonyeezamu, okujjako okugamba nti abantu baali bamuwadde ebirowoozo bingi, omuli n’okuddamu Ettofaali.

Kinajjukirwa nti nga Katikkiro Mayiga yakakwaata Ddamula mu 2013, yeyama eri Obuganda nti amasiro yali wakugamaliriza mu May wa 2014. Era naawa ekifananyi nti Katikkiro eyawummula, JB Walusimbi, omulimu yali takyalina maanyi gagwanguya. Bamubuuza ku mukutu gwa mawulire ogumu nti, biki ebikulu byeyali agenda okukyuusa e Mengo naddamu nti, “Obwakabaka bwa Buganda ne Mengo bifanana nga baasi. Driver aliwo bwakoowa, ebintu nebitandika okugenda empola, Ssaabasajja nga aleeta alina amaanyi.”

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Nedda Sssebo. Wasaba abantu ssente kuzimba masiiro, era, abantu balinze. Ozze obuza buza naye, abantu sibasiru!!!!!