BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu nsonda ezesigika mu Bulange, nga gategeeza nti Mengo eteekateeka okutunda omukutu gw’essimu ogwa K2 Telecom eri Airtel Telecom Company. Amawulire gano gazze nga K2 Telecom eri mu bizibu biyitirivu, omuli okulemelerwa okusasula ssente z’okupangisa emikutu gya network kweyisa amasimu gayo n’okubulwa sente ezisasula emisaala gy’abakozi okumala emyeezi 4.

K2 Telecom y’emu ku business eziwerako abakungu be Mengo zebazze betandikirawo okuva mu 2013 Katikkiro Mayiga naziranga buli wamu, ne mu Lukiiko lwa Buganda ne mu byaalo, nga ez’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu mweezi gwa September 2017, K2 Telecom yamala sabiiti nga 2 nnamba nga tekola, nekiteberezeebwa nti waliwo obuzibu mu byuuma bya kampuni ezigitunza emikutu ba kasitoma baayo kwebakubira amasimu. Kampuni zino ye Uganda Telecom and Smart Telecom.

Ensonda mu Mengo zategezeeza BugandaWatch nti Mw. Kawooya Mwebe, akulira CBS FM Radio ne munne Kiwalabye Male, owa Buganda Land Board, bamaze ebbanga nga tebakaanya ne Katikkiro Mayiga ku bwa nnanyini bwa K2 Telecom. Kubanga Katikkiro yali yediza obuyinza bwonna ku kampuni, ekyaviraako ne mukyala wa Kiwalabye eyali agikulira okugivaamu. Ate nga Mayiga y’omu ayagala n’okweddiza egimu ku migabo Kawooya ne Kiwalabye gyebalina mu K2 Telecom.

Ensonda zongerako nti emabegako K2 Telecom yafuna ebbanja lya bank esobole okuva mu bizibu naye Kawooya ne Kiwalabye ssente nebazeddiza, nga bagamba nti okufunira kampuni ebbanja lya bank, batekaayo bya bugagga byaabwe ate nga si betegefu kubifiirwa senga K2 Telecom eremwa okusasula.

Eby’okutunda K2 Telecom webitukidde nga Katikkiro Mayiga, atalina bumanyirivu mu business zikola magoba, obuvunanyizibwa bw’okuddukanya abusigazza yekka, nga ayambibwaako Mw. Godfrey Kisekka.

BugandaWatch tenasobola kumanya muwendo gwa ssente Airtel zesubiirwa kusasulira linnya ne ba kasitoma ba K2 Telecom. Kampuni ya K2 Telecom terina bizimbe oba network bya bwannanyini, wabula epangisa ofiisi n’emikutu okwogererwa okuva ku Uganda Telecom and Smart Telecom.

K2 Telecom yatandika okutambuza emirimu gy’essimu mu January 2013 nga ba kasitooma baayo bakozesa code ya 073. Abalirirwa okuba nga esigazza line za bakasitooma eziri wakati wa 50,000 ne 80,000.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Mulli busy, mukumpanya bwemubba. mukwesee obuzimbe n’obutakaa mbu mutegekera baana bammweee, naye mwerimbye…kuba kigenda kutwaala enaku mballe okusanyaawo byonna byemukwesee….