BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Okubiliriza kwa BugandaWatch okwatandika mu July 2017, wadde tekunaggwa, naye kwazudde nti emikolo egyekitiibwa mu 2017 Katikkiro kweyatonera gavumenti ya Uganda obuyambi bw’okugula obuuma obukebera obulwadde bwa sickle cells, gyali gya kugumaaza na kubulankanyizaamu ssente za Buganda.

Obujulizi BugandaWatch bweyakafuna bulaga nti Mengo yagula obuuma obukebera sickle cells okuva mu Techno Med Ltd ku US$15,351.00, nga ku invoice kuliko nti USD$12,000 zaali za kusasulwa nga 25 August 2017 telunayita. Wabula ate invoice eraga nti yawandiikibwa ku lwa 10 October 2017, akamu ku bubonero nti entegeka teyali nambulukufu.

Invoice y’obuuma obukebera Sickle Cell

BugandaWatch ate era yafuna kopi ya transfer form ya Stanbic eraga nti, wadde invoice ebanja yawandikiibwa nga 10 October 2017, Mengo yali yasasula dda Techno Med Ltd, nga 25 August 2017, US$12,000. Sente nga zaava ku akawunta y’Eggwanika lya Buganda mu Stanbic Bank.

Ku mikolo 2 egy’okuwa Uganda obuyambi, Katikkiro yalangirira okutwalira awamu yajja US$95,000 ku zaava mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka okugula obuuma Mengo bweyatona. Kubanga empapula ziraga nti Techno Med Ltd obuuma yabubaguza ku US$15,351 kitegeeza nti abakolera mu “bwerufu” bwa Mw. Mayiga Kabaka baamulira mu ngalo US$80,000 oba UGX 284,000,000.

Transfer form y’obuuma obukebera Sickle Cell

 

Kati ate Omunyakole wa Techno Med atabukidde abasajja ba Kabaka beyayamba mu lukwe lwaabwe nga agamba nti naye bamunyagirayo. BugandaWatch teyasobodde kumanya ssente meka zabanja.

Wabula obubonero bwonna bulaga nti ategeka okutwaala Mayiga ne banne mu mbuga za mateeka. Kubanga Obwakabaka bwa Buganda tebuliwo mu mateeka ga Uganda ya Mw. Museveni, Omunyankole ayinza okwesanga nga Kabaka Muwenda Mutebi gwalina okutwaala mu kooti.

Nga 24 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yalangirira nti yajja ssente mu ggwanika lya Buganda nazigabira ekitongoke kya gavumenti ya NRM ekiyitibwa Central Public Health Laboratory. Mengo yategeeza nti ssente bali baziguzeemu buuma obukozesebwa mu kukebera obulwadde bwa sickle cells, obubalilirwamu UGX 210 million  oba $63,000 (Soma: Ente yazzemu okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika mu maaso ga Kabaka, ssente Mengo zeyakugaanyizza zabiddwa).

Mayiga y’omu, yali yakola omukolo  mu July wa 2017 nagamba nti Mengo etonye UGX 110 million (US$32,000) eri ekitongole kyekimu,  Central Public Health Laboratory, nga nazo zaava mu misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka aga 2017 (Soma: Katikkiro Mayiga donates financial aid to Museveni’s NRM government).

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Abaganda banyagiddwa kigavumenti, ate ne Mayiga naye nabanyaga?? obusente bwabwe obwekinaku? Buganda esinzirawa okugabira kigavumenti kya uganda ssente? Kunziba kyekibbyemu abaganda?? Nebalwana olutallo, nikasasulamu balalaa, nekibavuwazaa, abantu nebatundako bulli kantu. Naye, abakola ebyo byonna, mulabira kumpii!!!

  • Lt Baziira

    Mayiga asoloozaa sente mu Baganda ngabwa zitwala ewa m7? Buganda Watch byemwogera bituufu. oba nammwe mulli mukutabangula? Kuba, m7 anyazee abaganda bulli kantu, kale toyina bwongamba nti katikkiro wabuganda ate akamula sente mu baganda nabakamulamu sente..Kinonkibi nyoo!!!!! Bwekiba kituufu….