BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 17 January 2018, president Museveni yakyaaza omukulu w’essomero n’omusomesa w’Okubala (Mathematics) okuva mu ssomero lya David Kiwalabye, Executive Director was Buganda Land Board, ery’obwanannyini. Okusinziira ku mukutu gwa Facebook ogw’essomero lino, eriyitibwa Gombe Junior School, Museveni yayita abakulu bessomero bamuwe amagezi ku mutindo gwaabwe ogw’okusomesa mu primary, ogusinga okuba ogwaggulu mu ggwanga.

Kubanga abaana 6  bokka mu Gombe Junior School beebafuna obubonero obusinga okuba obwa waggulu ennyo (4 Distinctions), ekya Museveni okuyita abakozi ba Kiwalabye amangu ng’ebibuuzo byakafuluma abayozeyooze, waliwo abakozi 2 mu Bulange bekyaletedde okuwandikiira BugandaWatch nga  bagamba nti Kiwalabye alina enkolagana eyenjawulo ne State House.

Amasomero ekuumi agaasinga okuyisa my PLE

Email eyavudde ew’abakozi be Mengo egamba nti,  “Twagala mubulirize kubanga tutya nti omukulu Kiwalabye agenda yelabira gyeyava era atandise n’okuziba amaaso ku wa gyagenda.” Baasabye BugandaWatch okugenda ku mukutu gwa Gombe Junior School okulaba Museveni bweyakyazizza abasomesa ba Kiwalabye n’okubawaana okubeera n’ensomesa esinga okuba eyawaggulu. Era nga baagala amazima gaveeyo ku nkolagana Kiwalabye zalina ne bannamawanga, naddala Abanyarwanda n’Abadinka ba Southern Sudan.

Abakozi be Mengo balumiriza nti, “Omukulu Kiwalabye business ne ssente byalimu leero tasobola kunnyonyola gyeyabijja. Amasomero talina Gombe Junior lyokka. Agatattako St. Andrews Kawaala Gombe S. S, ne SCUBIDU Nursery and Primary School. Ate omukulu ono y’omu kubalina emigabo emingi mu K2 Telecom, yazimba eddwaliro ate n’edduka lya pharmacy. Byonna nga bya maanyi. Ebyo kwogatta amaka, amamotoka n’ebulamu obw’ekiggagga.”

Abakungaanya ba BugandaWatch basalawo bamale kubiliriza ku nsonga ezaali mu Email. Era, oluvannyuma lw’okubiliriza kwa nnaku 4, BugandaWatch ekizudde nti, mu kutwaalira awamu, ebiri mu Email ya bakozi mu Mengo bituufu. Amasomero 3 agali mu Email ddala ga Kiwalabye era agaddukanyiza mu kampuni gyayita Gombe Education Brand.

Ku Gombe Junior School, kyeraga nti essomero lino Kiwalabye kwasinze okumalira ssente enyingi, eziri mu buwumbi bwa shilling za Uganda obuwera. Essomero lyazimbibwa mu nkula (design) ya makolero ga ngoye ate mu kifo ekijama olw’enfuufu, nga n’ebizimbe byawuundibwa ku mutindo ogwa wansi (poor quality). Naye lirimu ebikozesebwa awamu ne tekinologiya bya muwendo gya waggulu nnyo.

Ku kya Kiwalabye okuba n’enkizo eri gavumenti ya Museveni, BugandaWatch yazudde nti nga 29 June 2017, ekisuulo ky’abalenzi ba P5 ne P6 mu Gombe Junior School kyakwaata omuliro. Omukulu wa police Kalekeezi Kayihura yakola ekitabangawo mu Uganda era ekyaleka nga bantu be Nakawuka nga banyeenya mitwe. Olwafuna essimu ekwata ku muliro, Kayihura yawereza ennyonyi namunkanga (helicopter) mangu, netandika okwewujjira mu bbanga, waggulu w’essomero lya Kiwalabye, okulagirira ebimotoka by’abazikiza omuliro baleme okubula.

BugandaWatch era yakakasizza nti Kiwalabye musajja muyigirize era alina degree 2. Yasooka kukolera mu terekero ly’ebitabo (library) erya Ndejje University. Eyo gyeyava okujja e Mengo okukola mu BUCADEF ate oluvannyuma, nalinyisibwa okukulira Buganda Land Board. Musajja mugezi era muyiiya ddala, naye nga ssente zalina ateekwa okuba nga yazijja walala, si musaala ogw’obwesimbu.

Mu ngeri y’emu, ate era BugandaWatch tenazuula bujulizi bukakasa nti Kiwalabye ssente yazijja mu kulya nguzi oba kubulankanya ssente za Buganda Land Board. Eno y’ensonga lwaki abakozi be Mengo abawandikiika Email si bakyaamu okwekengera nti obugagga bwa Mw. David Kiwalabye, buyinza okuba nga  buva ku mukungu wa Kabaka kubeera mu kinywi ne president Museveni oba ne bannamawanga abalala, abava e Rwanda ne Southern Sudan.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Naye munazukuka ddi? oyo Kiwalabye malle gwemulabira ddalla omusajja omunyarwanda????? Kalle abantu basiruwade kumulembe gunno,,,,