BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 12 January 2018, Katikkiro wa Buganda eyawummula, Engr. John Baptist Walusimbi, yaguddewo olusirika lw’abavubuka ba Baganda Nkoba za Mbogo (BANKOSA) olwabadde  ku ssomero lya Buddo Christian Academy, e Buddo mu Busiro. Guno gwemulundi ogwasoose Engr. Walusimbi okulabika mu butongole ku mukolo ogwekuusa ku nsonga za Buganda okuva lweyawummuzibwa ku bwa Katikkiro mu 2013.

BANKOSA mwemuli abavubuka Abaganda abagaana okugenda mu Nkoba za Mbogo Uganda, Katikkiro Peter Mayiga ne minisita Henry Sekabembe gyebateekawo, mu kawefube wa Mengo okuyingiza ba nnamawanga mu mirimu, ebibiina n’ebika by’Abaganda era n’okubawaamu obukulembeze. Olusirika lwa BANKOSA olwamaze ennaku 3, lwetabiddwamu abavubuka okuva mu masomero, amatendekero ne yunivasite ezenjawulo mu Buganda. Omulamwa gw’olusirika gwabadde, Obuganda Obw’enkya Ekkula.

Mw. Walusimbi yafaanaye ng’annonnyola ababadde bebuuza gyeyabulira, bwe yategezeezza abavubuka ba BANKOSA nti Kabaka okumuwummuza ky’amuwa omwagaanya okukola ku mirimu gye egy’obuntu, gyeyali asuliridde nga akola egya Kabaka. Yeyamye nti kati mwetegefu okuteeka amaanyi ku nsonga za bavubuka Abaganda kubanga bolesezza nti balina obusobozi okuyimilirawo  okulwanirira n’okutaasa ekitiibwa kya Kabaka ne Buganda.

Katikkiro eyawummula Walusimbi yakubirizza abavubuka ba BANKOSA obutaggwaamu maanyi wabula balemere ku mulamwa. Federo teyagyogeddeko kiwera, wadde okutangaaza oba nayo esaana kubalirwa mu mulamwa gweyakubirizza abavubuka okulemerako.

Abavubuka, bakubaganyizza ebirowooza ku ngeri gyebayinza okuzimbamu Obuganda Obw’enkya era basazeewo okwongera amaanyi mu kubuliriza n’okumanya ebikwata ku Buganda, okufaayo ennyo n’okulondoola ebikolebwa abakulembeze e Mengo, okubunyisa enjiri ya Federo mu masomero gyebasomera ne mu Buganda yonna.

Abogeezi abalala abakuukuutivu abetabye mu lusirika luno, mwabaddemu Katikkiro eyawummula Dan Muliika,  Omutaka Nakirembeka Allan Waliggo,  ba minista ba Buganda abaawummula, Muky. Florence Bagunywa Nkalubo ne Mw. Sewava Sserubiri Walungama, n’Omw. Sentamu Sewandagi.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+

Comments are closed.