BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 2 January 2018, abaana abasoba mu 600 baakedde kukungaanira Mengo okumpi ne Bulange awabadde omukolo ogw’okubasiibula nga bagenda okwetaba mu Kisaakaate kya 2018. Omwaka guno Ekisakaate kyakubeera ku ssomero lya Saint Joseph of Nazaleth e Mpigi mu Mawokota era nga kyakumala wiiki 2.

Bweyabadde ayogera eri abasakaate, akulira eby’okugunjula abaana mu Kisakaate, Muky. Joanita Kawalya Muganga,  yategezeezza nti ekisaakaate ky’omulundi guno kyakutambulira ku mu mulamwa ogugamba nti “Obuntu bulamu butandikira ku nze”.  Nannyonnyola nti, “Nabagereka ayagala omwana omuto azimbibwemu obuntu bulamu, nebwalikula atambulilenga mu kkubo eryo.”

Kabaka Ronald Mutebi yasuubirwa okuggalawo Ekisakaate kya 2018 nga kiweddeko.

Entegeka y’Ekisaakaate yatandikibwawo Nnabagereka wa Buganda, Sylivia Nagginda, nga ekigendererwa kwekutendeka n’okugunjula abaana mu mpiisa, okwelabirira n’okubeera abatuuze abomugaso. Ekisakaate kiddukanyizibwa ekitongole kya Nabagereka Foundation, mu nkola eyefananyirizaamu nga holiday camp oba summer camp mu nsi ze Bulaaya. Era abaana abetaba mu Kisakaate balina okusasulirwa ssente awamu n’okujja n’ebyetagiisa.

Ebizze bisomesebwa abaana mu Kisakaate mu myaka egiyise mulimu, obuwangwa n’empisa za Baganda, empisa z’Ekizungu n’eza mawanga amalala, okweyonja, okufumba, okuzina amazina, okuyimba, okweyisa obulungi mu bantu, emizannyo nga Judo oba Karate, n’ebilara bingi nnyo.

 

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Maama waffe tulli nawe…Obugana bumu ne Mmeemee emu…..

  • Lt Baziira

    Maama waffe tulli wamu nawe….Obuganda bumu ne Mmemee emu…..