BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 29 December 2017, Mw. Grace Ssemakula Musoke Kasepeewo, abadde amanyiddwa ng’omukulu w’ekika ky’Olugave okuva mu 1986, yalangilira nti alekulidde obwa Ndugwa. Ssemakula yategeeza abamu ku bakulu b’emituba mu kika ky’Olugave abaali mu lukungaana lwe yayita mu maaka ge, nti ekifo ky’obwa Ndugwa yali akivuddemu, “olw’Abazzukulu abasusse okunjogelera nga bwesikyasobola kuddukanya kika.”

Mu lunkungaana lwelumu, olwatuula e Kibuye, Kampala mu Kyaddondo, Mw. Ssemakula yalonda era nalangirira nti Mw. Fred Katende Kyekango, akulira Omutuba gwa Kasana ye Ndugwa omujja, amudidde mu bigere.

Wadde Kabaka Mutebi, abakungu e Mengo, awamu n’Abaganda bangi abensonga bamaze emyaka mingi nga batwaala Grace Ssemakula nga Ndugwa omutuufu, abeddira Olugave bangi, omuli n’abakulu ba masiga, bazze bakimuteekako nti yalya nsowole. Batuuka n’okumuwabira mu Mbuga ya Kisekwa nalemwa okunnyonyola engeri gyeyafuukamu Ndugwa (Soma: Lugave Clan members and Bataka boycott Grace Ssemakula ceremony).

Grace Semakula watuukidde okuta obwa Ndugwa nga takyasobola na kugenda ku butaka bwa kika e Katende mu Mawokota.

Mu lunkungaana lwelumu olwa 29 December 2017, Semakula yakwasa gweyalonda okuba  Ndugwa omujja omuggo gweyayita BUBUBU (mbu ekitegeeza “Bukozi, Bumalirivu, Bwesigwa”), nagattako nti, “Omugo guno nasazeewo okugufuula Ddamula omusibuka obuyinza bw’Ekika era nga buli an’alyanga obwa Ndugwa anagukwasibwanga ng’akabonero k’obuyinza.”

Abakulu b’amasiga n’emituba abawerako bwebawulidde ekikolwa kya Grace Ssemakula eky’okulonda Ndugwa omujja mu nkola ya nnakyemalira, bakiwakanyizza nnyo era nebakiyita bujulizi nti ddala tamanyi byafaayo na nkola ya kika ky’Olugave entuufu.”

Omutaka omu yategezezza BugandaWatch nti, “Omwami oyo okwelondera Ndugwa omujja, bujulizi obukakasa nti ddala yalya nsowole kubanga tategeera Nnono yaffe byelambika ku kulondebwa kwa Ndugwa. Mu Nnono y’ekika kyaffe, okulondebwa kwa Ndugwa kwetabwaamu emituba emilangira gyonna era kubaamu n’okwebuuza ku bataka abenjawulo mu kika. Grace kyeyakoze tetuli betegefu ku kiwa kitiibwa era tujja kutuula ate tutereeze emivuyo gyatulekedde, nga tugoberera Ennono y’ekika kyaffe.”

Ku ky’okutekaawo Ddamula w’Olugave, Omutaka yasese nga tanaddamu nti, “Omuganda omutuufu ow’emyaka kumpi 80, ate nga mukulu wa kika, yandibadde ategeera bulungi amakulu g’omuggo Ddamula Kabaka gwakwaasa Katikkiro. Era ekirowoozo ky’Omutaka omukulu w’ekika mu Buganda okukwasibwa omukopi Ddamula ey’enkula yonna tewali gyeyandikiggye.”

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+

Comments are closed.