BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 26 December 2017, Muky. Betty Bakireke Nabooze, omubaka w’ekibuga Mukono mu palimenti ya Uganda, yalangilira nti “[Kati Abaganda] kyetubanja era kyetusibirako kiri nti tulekebwe tugende… tetukyayagala kubeera banna Uganda.” Ebigambo bino Muky. Nambooze yabiyisizza ku mukutu gwe ogwa Facebook, gweyatuuma erya Madam Teacher’s Class.

Ekikolwa kya Muky. Nambooze kyazze oluvanyuma lwa babaka ba NRM mu palimenti ya Uganda okuyisaamu ekiteeso okukyuusa ssemateeka wa Uganda, okukiriza okuvuganya ku bwa president nga asusse emyaka 75. Muky. Nambooze teyannyonnyodde ani Abaganda gwebabanja oba gwebasuubira okubaleka bagende okuva mu Uganda.

Muky. Nambooze yannyonnyodde nti, “Ensi nga Uganda ezazimbirwa ku kukaka amawanga Katonda geyayawula gegatte, ziba zetaaga nnyo okutambulira ku kukaanya. So si ggwanga limu okuwamba amalala neligafuula abaddu.”

Nambooze yaweze nti olutalo lwonna oluliddamu okulwaanirwa mu Buganda, lugenda kuba lwa kujja ggwanga Buganda mu buwambe. Yamalirizza nga asomooza oyo yenna ebigambo bye gwebirumye, amulumbe mu maka ge e Mukono.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Ekintu ekiyitbwa Uganda, tekirimu kalungi nakamu, era, bulli gwanga lyonna ngasi Buganda yokka, okufuna emirembe, nga Ekintu ekiyitibwa uganda kijjidwawoooo……

  • Lt Baziira

    Njagala okwebazaa Owekit. Mkyl. Nambooze, okuvayo kuluno noyatulla. Era Ekizimba nokiyita Ekizimba. Okubona bona kwonna kwetulimu kuva ku kikoligo ekiyitibwa Uganda ekyatukakatikibwako abazuungu. Kyova olaba nga bukya kitutekebwako, tetwadayo kufuna mirembe. Naye, tetulina kkubo dalla lyonna lyetuyinza kuyitamu okujako okulwana olutalo. era abalowooza nti nwaliwo ekkubo edalla, mwerimba!! Njagala, tutandikirewo kukigambo kyamajee!! jetunakoma okwewala ebyokwerinda netubirekera abantu abalala, jebajja okukomya okutubonya bonya. TUTWALE OBUVUNANYIZIBWA BWAFFE!!!!

  • Joyce Lutwaama

    Nambooze, byogedde bwebiba nga bituufu kilungi nnyo. Kubanga banji ku ffe tubadde tulowooza nti Abaganda na Banyarwanda abali mu parliment ya M7 ebya Buganda mubyogerako nga mwagala kukola mawulire.

    Kati no twegateko okulemesa ba namawanga abasensela Mengo, okutandika ne Mayiga omuhangaza, sendaula mujja na nnyina omusamya ne David ntege mutabani wa bapakasi ba Kisitu abaava e Tororo.

    Ha tetunatereeza byasoba tusooke abagenda mu maaso oktuwabya.

    Ba Jjajja ffe batuyigiriza okusembeza abantu nga bano Obuganda bukule. Naye ate tebatugamba nti tubakkirize okufuga nokusibula Ensibuuko yaffe nga Mayiga, Sendawula, Sengendo, Ssemakula Musoke, Ntege, Kaddu Kiberu nabalala bwebakoze.

  • Lt Baziira

    Haha….Kakati kyekyo kyambadde njogera obudde bwonna. Ngabaganda nti, tetugenda kufuna mirembe ngatuli mu kintu ekyatukakatikibwako abalabe baffe. kuluna, sigenda kwogera bingi, kuba, fenna tumanyi ekyokukola, naye twesibidde mukutya…. Kino tekigenda kutuyamba!!!