BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Nga 22 December 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Mutebi yalabika ku mukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu ogwaali mu mu bimuli bya Bulange e Mengo, Kyaddondo. Obutafanaana na mikolo Kabaka kwabadde alabika, kati kumala myaka, ku luno Omutanda yasobola okubeera okumpi n’abantu be nanyumyaamu nabo n’okubakwaata mu ngalo. Amagye ga president Museveni ag’emmundu za kadumu kuluno gaali tegamwetolodde  kututisatiisa na kutulugunya bamusemberera.

BugandaWatch tennasobola kutegeera kiki ekyaavirako abamagye ga NRM obutabutikira mukolo gwa Kabaka nga bulijjo. Ensonda ezimu zategezezza nti, oluvannyuma lw’okuwangula olutalo lwa Togikwatako,  Museveni yasazeewo nti takyalina kimwetagisa kwetolooza Kabaka basirikale. Ate waliwo n’ensonda ezigamba nti mu 2013 Museveni ne Saleh bawa Mayiga abasirikale abangi batyo kumusobozesa kuteeka  endagaano ya MOU mu nkola nga tewali Muganda amuteganya. Era nti kati balaba anafuyiza Mengo, Abataka n’Abalangira ekimala. Okutwalira awamu, byonna bikyali bya  kutebereza.

Ssaabasajja, eyawerekerwaako Nnabagereka Sylvia Naginda ne Namasole Magaret Siwoza, bweyatuuka ku mukolo yasooka kulambula weema omwaali mutudde abakozi b’ebitongole by’Emengo n’abagenyi abatali bamu. Bangi ku bantu bano yababuuzako, nabakwata ko mu ngalo era n’abamu nasaagamu nabo.

Ng’omukolo gutandise, Kabaka yasanyusibwa zi kwaaya okuva mu makanisa ag’enjawulo era n’abasanyusa abalala ba ssekin’omu. Okusaba kw’ediini kw’omulundi guno kwakulemberwa Ssabasumba Kizito Lwanga. Ku mukolo gwegumu, abakozi abatali bamu okuva mu bitongole by’eMmengo basiimibwa n’okuweebwa ebirabo. Oluvannyuma, Ssaabasajja yakoleeza omuti gwa Ssekukkulu.
Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+

Comments are closed.