BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Ku lwa 17 December 2017 editor@BugandaWatch.com yafuna ebaluwa ya email ng’evumirira eky’omukulu wekika ky’Emmamba,  Gabunga Ziikwa, okwenyigira mu kwaabya olumbe lw’omusajja Omunyalwanda. Omusajja ebaluwa gweyogerako ye mugenzi Mathias Birekyeraho Nsubuga eyali owa DP ate nga  n’okwabya olumbe kwaliwo ku Friday nga 15 December 2017.

Ebaluwa yabadde nsongovu nnyo ate nga mpaanvu ddala era abakungaanya ba BugandaWatch bawalirizibbwa okugifunza n’okujjamu olulimi olukambwe ennyo.

Abawandiisi b’ebaluwa eno bategezezza nti amannya, be ba Ibra Mubiru, Joyce Nakanyike, ne Mulinde Naggenda. Bagambye nti bonna Baganda, ba Mmamba era balina omusaayi gwa  Gabunga Mubiru eyasooka, mu misuwa gyaabwe. Baalaze okwetamwa bwebawandiise nti, “Tukooye basuubuzi bannafe abe Kenya ne Rwanda okutulangiranga nti Abaganda tuli basiru olw’okwewaana nti twaniriza buli muntu. Ate betwewana okwaniriza bo bwebatwaala ebintu byaffe byonna, netudda mu kwegayirira n’okukolima.”

Nakanyike, Mubiru ne Naggenda bannyonnyodde nti omugenzi Birekyeraho bali bamumanyi bulungi era nga baakolagana naye mu business ng’ali mu kitongole ky’ennyonyi mu myaka gy’ekinaana. Mu kusooka yabagambanga nti Munyalwanda naye yakulula mu Baganda abe Mmamba ate n’asomera mu seminary. Era nti bo bamanyi munna diini eyamuyamba okw’enyiga mu kika kye Mmamba era n’obukumpanya bwebakozesa. Bayongeddeko nti olw’embeera eriwo obuli mu bukulembeeze bw’ekika, benkengedde nti abaana ba Birekyeraho bwewatabaawo abalwanyisa na lyaanyi, bayinza okutandikira kitaawe weyakoma nebatuuka n’okusatulula ekika.

Okusinziira ku baluwa ya bazzukulu ba Gabunga abasatu, Gabunga Kasozi bweyava ku nsi, ebizibu by’ekika nebitandiika okwetuuma ku misinde. Essiga lya Nankere ly’ekutulako nelyetongola ng’ekika. Kati waliwo amasiga amalala agali mu mitendeera egy’enjawulo okwekutulako getongole. Ate nga kirabika obuzibu businga kuva mu ngeri ba nnamawanga ne ba half Muganda, abalowooza nti ensonga z’ebika bya Buganda ziringa za busubuzi gyebazze bawamba obuyinza mu kika.

Omusango abawandiisi basinga ggusa ku Jjajja waabwe Gabunga yennyini. Kubanga bawandiise nti, “Wadde tumanyi nti Jjajja waffe yakulira mu ba kojja be Abanyalwanda ku mawanga, ekyo tekimuwa beetu kuyingiza bannamwanga mu kika kyaffe. Mu buwangwa bwaffe kimukakatako okulwanirira ekitiibwa ky’ekika kyakulembera, bazzukulu be n’eggwanga lye. So si kubisabuluula nga ateeka buli mugagga eyeyita Nsubuga oba Kiberu oba Nalwooga ku mwanjo mu Mmamba.”

Bannyonyola nti, kati banamawanga, nnadala Abanyalwanda batandise okweddiza obuyinza mu kika.  Nti ekyo kitandiise okufuula Abaganda abagezaako okwenyingira mu nsonga z’ekika okulabika nga abatalina magezi era abatamanyi kya kukola okutuusa nga munnamawanga amaze okujja. Balabudde nti, “Owe Mmamba yenna ayagala ekika kye amanye nti olutalo olujja lwa kuwemukira bantu ng’omusika wa Birekeraho, okubalangira mu lujjudde, n’okubawerekereza bave ku high table zaffe. Kubanga bwetudda mu kusirika mbu tuleme kuswaala, abatuvuma obusiru tebajja kuba bakyamu.”

Nakanyike, Mubiru ne Naggenda bawunzise nga bemulugunya nti, “Ekya Gabunga okugenda ku mikolo gy’okwabya olumbe lw’omusajja Omunyalwanda, eyafa nga aguze obuguzi ekifo mu ssiga, kikyaamu nnyo. Kiraga nti Gabunga waffe talaba mugaso gwa njawulo na kitiibwa ebiri mu muntu kubeera Muganda eyeddira e Mmamba.  Ate era kiwa ekifananyi nti ensonga za Nankere n’amasiga amalala okwagala okwekutula ku Mmamba ob’olyaawo ziyinza okubaamu eggumba.”

Mukyala Nakanyike ne bannyina basembezaayo kusuubiza nti betegefu, “Okulondoola n’okuwemukira bannamawanga abalowooza nti okukulira mu maka Amaganda nebetuuma Kiberu oba Nsubuga oba Nalwooga oba Kizito kimala okufuuka Omuganda eyeddira e Mmamba n’ositula ne Gabunga okusula mu lumbe lwo. Kubanga Ennono y’ekika kyaffe tewa Bataka buyinza kusubula kitiibwa kya buzzukulu.”

 

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
 • Lt Baziira

  Mwebale nyo Bazukulu ba Gambunga Abatuufu. Ekizibu kino tekiri mu MMamba mwokka, naye, kiri mu bika byabuganda byonna nganobwakabaka obutwalidemu. Ekizibu kino, kiva kunsoonga eziwerako ngangenda kumenyako ezimu:
  (1) Abazungu bawamba Africa yonna, era nebyobuwangwa byonna nebabisaanyawo. Okujako amawanga amatono enyo agabalema nga okwo kwekuli ne Buganda. Naye Omuzunga tava kunsonga, era kyova olaba ngabukya agenda, jeyava, abaantu tebafunga mirembe. Ekikoligo kyeyatondawo nakituuma Uganda, kikyaliwo, ne kigavumenti kikyaliwo era ngakikola munkola yemu, namateka gegamu no lulimii byeyalekawo. Kale, ngayeyambisa abatume mukigavumenti, yasooka Obote ngayita mu Mmundu, naye, nalemwa. kati kuluno yayita mu Museveni, era nga kuluno bayise mubyonna ngakwekuli nokuyingira si Bika byokka, naye nemu bwa Kabaka bwaffe, ngabakoseza olukujjukujju.
  (2) Abamadiguli abajudde e Mmengo naye, ngatebayina kyebamanyi ku Buwangwa n’ ennono zaffe. Kyova olaba, n’ Olubiri lwabalema okuzimba. Abantu abamanyi Ebintu ebyo, tebabatwala ngekikulu. Kuba Abakungu bano, batendekerwa mu Biigo nemizigiti, era nebakula nga Obuwangwa n’ Olulimii lwaffe, tebabitwala ngekikulu. kino kyeyongede nyo kumulembe guno, okyokulabirako, uganda yeyasinga okwogera olungereza mu Africa yonna 2017. Abana Abaganda abamu mu Buganda tebamanyi Luganda. Kino kyabulabe!
  (3)Tetukyakuza Baziira. Abantu bonna, batitiizi. Kyova olaba nga ne Museni asobodde okubakozesa, kuba, batunulira ye eyafula nti muziira abasunireko kubyabbye. bbo bagende banywe omwenge, berage, bakole nobwenzi. Naye ngabarabidde nti, eno Nsii yabwee!! Gezako okigambe Omungereza, nti omuwa Enguzii. Kale, sikulandagga, naye, fenna tukimanye nti obuzibu bwonna buva mu State House, abakola ebyo, bakimanyi nti, tosobola kubakwatako kuba, bayina Emmundu. Naye ekiruma, era ekyobujoozi, nti ffe tuzibagulira. LT Baziira ndi muna Majee, ffe twalwana olutalo olwaleta Abanyarwanda mubuyinza, naye nembadukako ngabakoze olukwe lwokunzita. MUKAMA BAKUUME

 • Mubiru, Nakanyike, Mulinde

  Ssebo Nsubuga S.
  Ebigambo byo biwagira ebaluwa yaffe mu Bugandawach eyalabula ku muvuyo oguli mu MMAMBA. Mu kifo kyokwesiba ku Gabunga ne Mugula, lwaki totubulira lugya, lunyiriri ne omutuba Birekeraawo mwava? Ye oba omugenzi okakasa yali Muganda lwaki toyogela ku kitaawe ne ba jajja be oba obutaka? Abaganda tetutuuma Birekyeraho erya banyalwanda.

  Ye ani yakugamba nti atambuza olumbe agenda wa Gabunga?

  Ekisembayo, bwemuba mulowooza nti omuntu okubeera mu Gimusa Emmamba oba okufumbiza muwala we ewomulangira oba okuteeka sente mu pulojekiti kimufuula Muganda, Katonda abasasiire. Ssebo oba nyabo Nsubuga S, ffe Abaganda tukiyita kugezaako kugula kifo mu kika.

  Saabsajja Kabaka awangale.

  Bazzukulu ba Gabunga,
  Ibra Mubiru, Joyce Nakanyike, Mulinde Naggenda

 • Nsubuga S

  MUKULU KADDEEYO webale Amawulire go n’Okulumirwa Ekika ky’Emmamba. Omugenzi Hon. Mathias Nsubuga Birekeraawo yali yeddira Mmamba era nga ava mu Ssiga lya Mugula Entebe. Yali Musajja Muganda. Ekyo Ekika kyekyimanyi era aboogera bino nabiri ebyo byaabwe. Omutaka Gabunga kyaali kimukakatako okugenda e Manja Okwubya Olumbe lwa Muzzukulu we oyo kubanga yali mujjumbize nnyo mu Kika mu nsonga zonna. Yaliko Ssentebe wa Gimusa Emmamba nga yaanonyeza Pulojjekiti z’Ekika Ensimbi n’Okuzitunda mu Bantu, ate era nga Muntu Mukulu nnyo mu Buganda anti yali Mukoddomi wa Mbuga. Omugenzi yali munnaffe nnyo, ebbanga lyenamumanyira simuwulirangako nga abuusabuusa Omutaka Gabunga wadde Omuntu yenna okuva mu Famire ye. Ne Gabunga simuwulirangako nga amutankana. Y’ensonga lwaki ab’Enju ye Nga bagoberera Emitendera gyonna mu Kika (bataambuza) baleeta Olumbe eri Gabunga alukkirize okwabizibwa mubutongole ate nebamusaba abeereyo mu buntu. Samwasamwa asibya. N’olwekyo abo aboogera ebitakwatagana ku Mugenzi bawabule bwotyo, kubanga bamalawo Eddembe ly’Omufu erimuweebwa mu Mateeka ga UGANDA ekiyinza okubaleetera akabaate akayinza n’okubatuusa mu Mbuga z’Amateeka nebavunaanwa. Sinze Mwogezi w’Ekika Omutongole naye ekyo kyemanyi. Buli Muntu wa Ddembe okusalawo nga bwaba ayagadde eri Obulamu bwe Kasita aba nga talina Teeka lyamenye oba okulumya Omuntu omulala yenna. WEBALE NNYO Ssebo. AKUUME.