BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Mwanyinaze Namayega,

Nsubiira muli bulungi. Munange naffe tuli wano tutandise okufuna omuzira gwa snow, era ntandise okubeera ennyo munda. Anti nga bwomanyi, empeewo si mukwaano gwange nakatono.

Nga bwenakutegeeza emabegako, ekya mawulire ga Bukedde okufulumya kalonda akwata ku baana ba Kabaka, ye Katikkiro nasirika busirisi, kyankola bubi ddala. Naye ate Katikkiro bweyasalawo obutabikonako mu Lukiiko lwa Buganda nga 4 December 2017, nga ggwe bwewali olowozezza, eby’okwekubagiza nembivaako. Kubanga natandika okulaba nti Kabaka Mutebi n’abomunju ye bayinza okuba nga betoloddwa obulabe obunene ennyo okusinga abantu ba bulijjo kyetubadde tulowooza.

Ate no nnyabo siri nzekka. Kubanga bwenabuuzizza ku mutabani waffe wano ku mulirwaano ye yanzizeemu nti, “Kojja, oyo Mayiga bamukozesa nga Abangereza bwebakozesa Apolo Kaggwa ne banne okunyaga ettaka n’obwongo bya Baganda, nga bayita mu kusiba Kabaka emmimwa.  Era Kabaka Mwanga bweyagezaako okubalemesa, Mengo n’Abangereza bamutta nebasaawo mutabani we Ccwa eya tanaweza myaka 2. Olwo nebakozesa emyaka 18 gyebamala nga bo bennyini bamwekuliza, okuwabya obwongo bwa Baganda, okunyaga ettaka, okuserebya ebika byaffe n’Ennono ate n’okuwandiika ebitabo ebibafuula abazira abakuuma Obuganda.”

Ku Friday saakola, era naddamu okuyitayita mu posts ne messages zenali nalaba ku mikutu gya social media ne WhatsApp nga zikoona ku byaali mu Bukedde. Ate nentunuliira n’ensonga ya Mayiga okugenda mu Lukiiko lwa Buganda ku Monday nga 4/12/2017 nalema okubaako byatangaaza ku nsonga ya Bukedde byeyafulumya. Ensonga eyinza okuvaamu okutyoboola ekitiibwa kya Kabaka era n’obulabe eri abaana be.

Buli mukutu gwa Baganda kwendi, ebigambo bya Bukedde byayogerwaako era n’okuwakanwaako. Abamu nebateeka n’ebifananyi nze ebyanewunyiisa ennyo ku Facebook era byendowooza nti ne Katikkiro byamutukaako. Wabula ekintu kimu ekirabika nti kyakkiriziganyizibwaako ku mikutu kwendi gyonna kiri nti, Katikkiro Mayiga kimukakatako aveeyo atangaaze Obuganda. Bwekimulema kayinza okuba akabonero nti alina akakwaate ku bawandiika ku bintu by’abaana ba Kabaka, nebasasula Bukedde ebifulumye.

Ku social media ne WhatsApp kuliko abagamba nti ebya Bukedde biyinza okuba nga byaali bituufu mu kutwaliira awamu. Naye ate nga waliwo ababuuza, nga nange mwontwalidde, nti bwebiba ebituufu kitegeeza nti kati nkola za Baganda nti omukopi asobola okufuuka omulangira ssinga kitaawe ne nnyina bamugabira Kabaka?

Waliwo omukutu ogumu eno mu Diaspora kwenalabye awakana mbu, wakiri okumusalako nnaswi, Bukedde byeyakuba Mengo yeyabiwandiika nesasula bikubibwe. Ayongerako nti ye alina bwiino alaga nti eky’amazima abaana abalongo ba Kabaka Mutebi ne Nnabagereka Nnaginda. Waliwo abawagira omusawo ono, wadde tebanabalaba na bwiino we, nga banyigiriza mbu omulongo omulenzi afanana nnyo Ssemakokiro ne kitaabwe.

Okunnyonyola kwa Bukedde nakwo ate kulimu ebituli ebyongera ku kavuyo. Eky’okulabirako, bagamba nti edda nga abalangira baweerezeebwa mu maka g’abakopi bategeere obulamu bwa Baganda ababulijjo n’obukulembeze naye kati tekikyasoboka.

Ekyo kiba ng’ekitegeeza nti waliwo abawubya Kabaka mu bugenderevu nti Semakokiro okutegeera Abaganda n’obukulembeeze, asaana kuzannya n’abaana abakopi mu lubiri. Olwo Ssemakokiro aliyiga ddi embeera y’Abaganda n’obukulembeeze nga ye ne banne Abaganda babalengera bulengezi ku mikolo gya Kabaka, bo kwebabeera nga betoloddwa amagye ga Museveni ng’abasibe.

Nze ebintu bino ndowooza nti bisana okuva ku social media n’emikutu gy’engambo kubanga mbilabamu obulabe bungi eri Kabaka n’eggwanga lyaffe. Ate nga kyangu ssinga Katikkiro avaayo nabuliira Abaganda amazima. Era natukakasa nti ategeera nti akyafaayo ku mbeera ya Kabaka n’ekitiibwa kye.

Awatali ekyo, nze naaba sikyawakanya ngambo zigamba nti Mayiga byazze ayogera mbu, “Nze mwana wa Kabaka omukulu, ebya Kiweewa bya title kyokka,” birina akakwaate n’olukwe lwabalabe ba Kabaka Mutebi ne Buganda, abava mu nsi 2, abamu lwebaawadde erinnya erya Apolo Kaggwa II (oba K2).

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+

Comments are closed.