BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Nga 17 November 2017, Omumyuuka wa president wa Uganda, Mw. Edward Sekandi yeyali omugenyi omukulu ku mukolo ogw’okuggulawo enteekateeka y’okulakulanya omuzannyo gw’omupiira mu Buganda (Buganda Football Strategic Plan).

Ensonda ezesigibwa mu Bulange zategezezza BugandaWatch nti gavumenti ya NRM yeyalagira omukolo guno gubeere mu Serena Kampala Hotel, mu Kampala, so ssi e Mengo. Kinajjukirwa nti nannyini Serena ye muyindi ow’ekiwayi kya ba Shia, Shah Karim Al Husseini Aga Khan IV, ayasongebwaamu ennyo engalo ng’omuguzi mu lukwe lw’okutunda Olubiri lwe Mengo (Soma: Aga Khan back in the news as alleged investor behind cultural genocide against Baganda).

Okubuliriza kwa BugandaWatch kuzudde nti Mw. Mayiga ne minister w’emizannyo e Mengo, Henry Kiberu Sekabambe, eby’omukago  guno ku mupiira mu Buganda baabikola mu kyaama era tebabiyingizaamu bakulembeeze ba mizannyo mu bika bya Baganda oba mu masaza. Okkukuta mu kyama kutaddewo ekifanaanyi nti Mengo terina mutawaana na kutunda muzannyo gw’omupiira mu Buganda mu kizikiza, nga tefudde ku banannyinigwo, Abaganda. Omupiira gw’ebika gwatandikibwa Baganda ba bulijjo e Busega so ssi Mengo.

Nga BugandaWatch bweyawandiise emabegako, Mengo ekyagaanyi okusasula obusente obutono, obw’emitemwa gyeyasubiiza ebika ebyetaba mu mpaka ez’akamalirizo nga 25 November 2017 (Soma: Mengo ekyelemye okusasula ebika ebyetaba mu mpaka z’akamalirizo ez’omupiira gw’ebika bya Baganda). Ate nga Katikkiro Mayiga yaakatonera gavumenti ya NRM ensimbi eziwera UGX 320 million (US$95,520), mu July ne November w’omwaka guno ogwa 2017.

Engeri Mengo gyekuttemu ensako ab’Ente n’ab’eFfumbe zebabanja, kabonero nti endagaano ya Mengo ne gavument ya NRM yandibaamu entegeka y’okutta emipiira gy’ebika bya Baganda nga bayita mu kwavuwaaza tiimu z’ebika. Aba NRM bamaze ebanga lya myaka kumpi 3 nga batisatiisa abakungu abamu e Mengo nti emipiira gy’ebika bya Baganda gimenya endagaano ya MOU eya 2013 mbu “kubanga gisosola abatali Baganda”.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+