BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Ekitongole ky’ebyemizannyo e Mengo, n’okutuuka leero kikyagaanyi okusasula ensako z’ebika 2 ebyasamba omupiira ogw’akamalirizo mu mpaka z’Ebika bya Baganda (Bika bya Baganda Football Tournament). Omupiira guno gwasambibwa nga 25 November 2017, e Bukalasa mu Bulemeezi. Ente yawangula Effumbe ku goolo 1 – 0 mu maaso ga Ssaabasajja. Ebika byombi byalina okusasulwa olw’okwetaba mu mpaka zino.

Oluvannyuma lw’omupiira okuggwa, akulira akakiiko akatekateeka empaka, Mw. Yusuf Kamulegeya, yategeeza abakulira tiimu zino nti ssente ezaali zisolozeebbwa ku mulyango zonna zaali zibiddwa okuva mu motoka ye (Soma: Ente yazzemu okuwangula engabo y’emipiira gy’ebika mu maaso ga Kabaka, ssente Mengo zeyakugaanyizza zabiddwa). N’olw’ekyo, teyalina ssente za kubasasula nsako z’abwe.

Okusinziira ku mawulire amapya BugandaWatch geyafunye, Mw. Yusufu Kamulegeya yayogerako n’abakungu mu bika bino n’abategeeza nti yali wakubayita abassinkane ku lw’okusatu nga 28 November 2017. Ensonga y’ensisinkano yali kukaanya ku ngeri gyebanaafunamu emitemwa gyaabwe. Wabula teyabayita era ensonga tennamanyibwa.

Omu ku bakungu mu kika ky’Ente ye yategezeezza BugandaWatch nti tebajja kussa mukono okutuusa nga Mengo ebawadde ssente zaabwe. Yanyonyodde nti mu kusooka, baatuula n’akakiiko ka Mw. Kamulegeya nebakkaanya ku mutemwa gwebanafuna. Era bewuunya nnyo Mw. Kamulegeya okwefuula ku saawa envannyuma ennyo, nga bamaze okugwa mu mabanja, nagaana okubawa ensako yaabwe.

Omukungu mu kika ky’Ente yayongeddeko nti amabanja gebagwaamu nga tebagetegekedde mayititirivu era gayinza okumalamu ebika  amanyi okwongera okujjumbira empaka zino.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+