BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Nga 24 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yazeemu nate okujja ssente mu ggwanika lya Buganda nazigabira gavumenti ya Uganda. Yazitonedde ekitongole ky’eby’obulamu ekiyitibwa Central Public Health Laboratory. Mengo ne gavumenti ya NRM bagambye nti ssente baziguzeemu obuuma obukozesebwa mu kukebera obulwadde bwa sickle cells, obubalilirwamu UGX 210 million  (US$63,000). Zaava mu misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka Mutebi aga 2017.

Nga 14 November 2017, BugandaWatch yategeza abasomi baayo nti omulimu gw’okumaliriza amasiro ga Bassekabaka gwaali gwesibye lwa Mengo kulemwa kusasula misaala gya bazimbi (Ssoma: Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente).

Guno ssi gwe mulundi ogusoose Mayiga okuwa gavumenti ya Uganda obuyambi bwa ssente obutakuza emitwe. Nga 10 July 2017, Mayiga yawaayo UGX 110 million (US$32,000) eri ekitongole kino ekya Central Public Health Laboratory.  Ne kw’olwo, ssente ezatonebwa zaava mu misinde gy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka aga 2017 (Ssoma: Katikkiro Mayiga donates financial aid to Museveni’s NRM government).

BugandaWatch yakafuna amabaluwa 7 okuva eri Abaganda ebatali bamativu na ngeri Mengo gyegufudde omuze okuwa gavumenti ya NRM obuyambi bwa ssente. Ekyokulabirako ye baluwa ya Mw. Paulo Sewamala, eyagambye nti yali munna Nkobazambogo e Makerere University. Sewamala yawandiise nti, “Kyewunyisa Mengo okutonera gavumenti ya NRM ensimbi kyokka nga buli mwaka egamba nti tesobodde kutuukiriza emirimu gya Kabaka bulungi kubanga gavumenti ya NRM yagaana okusasula ensimbi Buganda zegibanja, kati eziri eyo mu buwumbi.”

Sewamala yayongeddeko nti Buganda etubidde mu bizibu ebingi olw’ebula ly’ensimbi. Yanokoddeyo okumaliriza amasiro n’okutereeza obukulembeze n’emirimu gya Muteesa I Royal University ng’ebyokulabirako. Namaliriza nga agamba nti, “Olwensonga eyo, sitegeera lwaki  Katikkiro addira obusente obutono obuli mu ggwanika lya Buganda nabuwa abantu ba ministry ya NRM eya health, bakakensa mu kubulankanya ssente.”

Emu ku mabaluwa yalaze okwengera nti ekya Mayiga okuyingiza ennyo ebitongole bya gavumenti ya NRM mu mirimu gy’eggwanika lya Buganda, kiyinza okuleeta obuli bw’enguuzi  obw’omutindo ogwa wagulu ennyo, oba oly’awo n’ebyokunyumuguza ssente (money laundering), mu mirimu gya Ssaabasajja.

Nga 25 November 2017, minister wa gavumenti ya NRM akola ku mawanga agebweeru, Mw. Sam Kuteesa, yawawabirwa emisango gy’okulya enguzi n’okwooza ensimbi ku mutindo ogwa wagulu. Mu gimu ku misango gino gavumenti ya USA emulumiriza okulya enguzi ya US$500,000 (UGX 1.7 billion) bweyali akiikirira Africa mu kifo kya UN General Assembly President. Kuteesa akoze ebyafaayo kubanga, kasokanga United Nations etondebwaawo, ye muntu eyakasooka okuvunaniibwa nti yakozesa ekifo kye nga UN General Assembly President okusabiriza enguzi.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+