BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Ku lwa 25 November, 2017, Ssabasajja Kabaka wa Buganda, Muwenda Mutebi II, yalabise ku mukolo  gw’empaka z’omupiira gw’Ebika bya Baganda ez’akamalirizo (finals). Empaka zino zabadde Bukalasa mu Bulemeezi.

Ekika ky’Ente kye kyawangudde nga kikubye eky’Effumbe goolo 1 ku 0, era nga gwemulundi ogw’okubiri mu myaka ebiri nga Ente ewangula engabo y’omupiira gw’ebika bya Baganda. Ennnyonyi Ennyange ye yawangudde engabo mu mpaka z’okubaka omupiira gw’abakyala ku  bugoba 50 ku 35.

Waaguddewo akacankalano abakulira ttiimu ezasambye bwe baagenze eri Mw. Yusufu Kamulegeya, ssentebe w’akakiiko akaategese empaka  (Bika Football Committee) abawe ensako gyebasubizibwa olw’okwetaba mu mpaka. Olwo nabategeeza nti talina ssente zakubawa.

Omu ku kubenyigidde mu kubanja ssente zino yategezeezza BugandaWatch nti, “Buli omu yawunikiridde, Mw. Kamulugeya bwe yabagambye, neriiso ekalu, nti ssente ezabadde zikunganyizibbwa zonna ababbi bamenye emmotoka mweyabadde aziterese nebazinyaga”.

Ssente Kamulegeya ze yagambye nti zamubbidwako abakulira tiimu ezetabye mu mpaka z’akamilirizo ze babadde bategese okusasuza amabanja ga woteeri ezabasuzizza n’okubaliisa awamu n’emotoka ezabatambuzizza.

Tekinnategerekeka obanga Mengo enekwata muggwanika esasule ab’ebika ebyetabye mu mpaka ez’akamalirizo ensako zaabwe mu bujjuvu. Wabula, ssinga Mengo enesamba obuvunanyizibwa buno, kisoboka abamu ku banaaba bafiiriddwa okufuna endowooza egamba nti  Mw. Kamulegeya ne banne e Mengo bebbye bokka.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+