BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Ku lwa 21 November 2017, abasomesa, abakozi n’abayizi ba Muteesa I Royal University (MRU) baafuna amawulire amatongole nti Prof. Arthur Serwanga, abadde Vice Chancellor, yawumuzibbwa. Era nga Dr. Umar Ahmed Kasule, abadde yakegatta ku MRU okumala emyezi mitono nga Deputy Vice Chancellor for Academics and Administration, yajja okukola nga Vice Chancellor ow’ekiseera (Acting Vice Chancellor).

Abasomesa n’abakozi ba MRU baali bamaze ebbanga nga bali mu kediimo. Wabula nga 17  November 2017, nebakkaanya okwetegeka okudda ku mirimu nga 2 December 2017, singa Prof. Serwanga aliba avudde mu bukulembeze bwa MRU (Soma: Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna).

BugandaWatch yakitegeddeko okuva mu nsonda ezesigibwa nti Dr. Umar Kasule yasisinkanye abasomesa n’abakozi ba MRU ku lw’okutaano nga 24 November 2017, ku ttabi lya univasite e Kakeeka Mengo. Era nga ensisinkano eno yagendereddwamu okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okwanganga ebizibu MRU byetubiddemu, wabula ebyafuddemu tebinamanyika.

Dr. Umar Ahmad Kasule yasomerera bya diini ya Busiraamu (Islamic Studies). Yafuna diguli eya Bachelors n’eya Masters okuva mu Makerere University. Okusinziira ku BugandaWatch byezudde ku Yintaneti nga Kasule yeyogerako, y’eyongerayo mu International Islamic University Malaysia okufuna diguli ya Ph.D. Okuva mu 2014 okutuusa leero, Dr. Kasule abadde asomesa mu Islamic University in Uganda, e Mbale.

Okubuliriza kwa BugandaWatch ku Dr. Kasule byeyeyogerako era kulaga nti talina bumanyirivu  mu mulimu gwa kukulembera oba kulakulanya kitongole (department oba faculty) mu ttendekero ery’edaala lya univasite.  Prof. Kasule ategeeza nti, yakolako nga Director w’esomero eriyitibwa NorthStar Success Academy. Naye olukalala lwa masomero n’amatendekero amatongole mu Uganda olwa 2016 BugandaWatch lweyafunyeeko kopi, NorthStar Success Academy telikyariwo.

 

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+