BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Mwannyinaze Namayega,

Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga ne kumulimu nsinga kukola nga nnyimiridde. Anti nga buli lwetuula mpulira obulumi, naye okuyimirira kugukakkanyiza ddala. Bulijjo nkuvunaana okukaabakaaba naye nage kuluno nze nkikoze. Wabula kansubire mwe muli bulungi era bonna bandabire.

Munange, mutabani waffe “professor” namukubira ku ssimu emabegako, okumutegeeza nti omugongo gunnuma. Nga bulijjo, byaggwa ampadde “wisdom” ezibula amaaso!  Yanyigiriza ngule ekitabo kyebayita Why Nations Fail, ntegeere ebileeta emivuyo egiri mu Buganda, Uganda ne Africa, era nejetulaga.

Sinakimalako naye ku byensomye amazima ddala bizibula amaaso. Ate ndowooza ggwe ne Ssenyonga muyinza n’okukozesa ekitabo kino okwefuula abalaguzi.

Ekitabo Why Nations Fail kizimbira ku byafaayo n’eby’okulabirako bya mawanga agazze gakula era n’agafa okuviira ddala nga ne Yesu tannazaalibwa, nekinnyonnyola ekitta amawanga leero. Mu kitabo n’akayigamu ebintu ebikulu bisatu:

  • Amasiga agakola ensi (institutions) gagwa mu biti bibiri. Ekika ekisooka kye ky’ago agesigama ku bakungu (elite) abatono okweddiza obuyinza ku bissi, obugagga n’ebyobufuzi – nebasoboola okwawulayawula n’okunyunyunta bannansi. Amasiga bwegatyo ekitabo kigayita extractive institutions oba absolutist institutions. Ekika eky’okubiri ky’eky’amasiga agatambulira ku kuwa buli munnansi asobola, omukisa okwenyigira mu by’obugagga n’eby’obufuzi by’ensi era gano bagatuuma inclusive institutions oba democratic institutions.
  • Amawanga agasize okufuna obugagga obwensibo (real wealth),  okukulakulana era n’okubamu obulamu obweyagaza era g’ego agajjudde inclusive institutions era agaadibya extractive institutions. Ate amawanga agasinga okuba n’abantu abali obubi n’abanoonya zi visa okuddukira mu nsi ennungi, g’ego agakulembeza extractive institutions.
  • Eggwanga lyonna eritambulira ku masiga ga extractive institutions, ku mulembe guno, telirina biseera bya mu maaso. Kubanga,  eggwanga okukula n’okugaggawala ly’etaaga okukozesa tekinologiya n’okuyiiya kwa bannansi abaabuli kika. Ekibi, ebyafaayo byonna biraga nti  abakungu (elite) b’ensi ezikulembeza okunyunyunta bannansi, ekintu kyebasinga okulwanyisa ye tekinologiya n’ebirowoozo ebiyinza okuzibula bannansi n’okuyuusa ennyo embeera z’abwe (disruptive technology).

Namayega, ekitabo kino bwonokisoma ojja kulaba lwaki abantu ba Japan balina obulamu obweyagaza okusinga ennyo aba mulilwaana China. Lwaki economy ya Bungereza (eyenkanira ddala Uganda obutono) nene nnyo okusinga eya Russia (esinga ne USA obunene). Mpozzi ate era ne lwaki Uganda eyabalirwanga mu nsi za Africa 5 ezaali zisinga okuba n’okulakulana okwa waggulu, mu 1965, kati ebalirwa mu 10 ezisinga okuba obubi ennyo.

Nga mutabani waffe “professor”, ne maama yenyinni, bwebazze batunyumiza bulijjo, mu mirembe gya Muteesa, nga ku Katikkiro ne Kabaka tewali ayinza kusalirawo Buganda kintu kikulu kyonna ng’Olukiiko lwa Buganda telumaze kukkiriza, ekikakasa nti Mengo yali inclusive institution. Gerageranya ne kakati, abakungu e Mengo (elite) abalanga obulanzi mu Lukiiko nti, “Twasalawo okupangisa Butikkiro”. Ate bwewabaawo abuuza lwaki kyali kityo, nebamuvunaana ogw’okulemesa emirimu gya Kabaka.

Ku ssande nabuuza maama nangamba nti  ku mirembe gya Muteesa, nga ab’emiruka bebakunga abantu mu byaalo bya Buganda byonna okukola Bulungi bwa Nsi. Kati Katikkiro ajja yetoloddwa bannamagye ne camera za TV, okusaba abatuuze Ettofaali, n’okubasubiza nti ssente bweziriwera, alibazimbira enguudo n’amalwaliro.

Mwana wa kitange, bwosoma ekitabo kino ate era ojja kutegeera lwaki abakungu mu Mengo balwanyisa nnyo ebirowoozo, tekinologia oba emirimu okuva mu Diaspora, bwebiba ku mutindo ogusukkuluma ennyo ku bo byebategeera.

Mu ngeri y’emu, kyangu n’okulaba lwaki Muzeyi Emnanuel Sendawula bwaaba alonda abakungu ba Kabaka mu Diaspora, anoonya abantu abanalayira amangu okugondera Katikkiro era abatasobla kuleeta birowoozo bya njawulo nnyo okuva ku Mengo byategeera. Kirabika nga Katikkiro ono eyasalawo nti, Omuganda yenna ali mu Diaspora bwaba nga muzibu nnyo okufuga ng’osinziira Mengo, ebilowoozo bye n’obukugu bwe biba bya bulabe eri Buganda.

Kansubire nti okuva ku bitono byenkubulidde onotandika okutegeera lwaki ebintu bingi bikolebbwa e Mengo mu myaka gino 4 egiyise.  Kopi yammwe ne Senyonga Moses agenda kugileeta.

Munange kankome wano ngende okugula emmere n’ebintu bya Thanks Giving Holiday. Tetujja kukola ku Thursday ne Friday, tuddeyo ku Monday. Naye ngenda kusigala waka, mpumuzze omugongo n’okusoma ebitabo ku Buganda. Bandabire nnyo.

 

Ssaabasajja Kabaka Awangaale!

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+