BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye ku ttabi lya univasite eno ery’eKakeeka Mengo nga 17  November 2017. Mu nsisinkano eno, bakkaanyizza okudda ku mirimu gyabwe nga 2 December 2017, ng’olukiiko olutwala university bwelwategeeza,  singa ensonga ezabaviirako okwediima zinaaba zikoleddwako.

Ensonga gyebasinze okusimbako essira ye ya Vice Chancellor aliwo, Prof.  Arthur Serwanga okumala okugenda. Bategezeezza nti ssi betegefu kudda ku mirimu nga Prof. Serwanga tannagobwa oba okulekulira.

Abasomesa n’Abakozi bagamba nti Prof. Serwanga adibaze univasite, nga otwaaliddemu n’enkolagana wakati wa basomesa n’abayizi. Kale kizibu gyebali okuddamu okukolagana naye. Ku ky’omusaala gwebabanja ogw’emyezi 4, bategezeezza nti betegefu okuteesa ne vice chancellor omupya yenna ku ngeri y’okubasasula era ng’ekyo tekibagaana kudda ku mirimu.

Esuubi nti MRU yandiggulwa nga 2 December 2017 lyeyongeddeko nga kitegerekese nti ku lwa 17 December 2017, ne Katikkiro Mayiga,yayogedde ku Associate  Prof. Umar Ahmed Kasule nga, “Vice Chancellor wa Muteesa I Royal University ow’ekiseera”. Kino Mayiga yakikoledde mu lusirika lw’aba minisita, abakulu be bitongole n’aba Masaza mu Buganda olwabuli mwaka, olwatudde e Ndejje mu Bulemeezi. Tekyategerekese oba Prof. Kasule anayanjulwa ddi mu butongole.

Dr. Umar Ahmad Kasule yasomerera bya diini ya Busiraamu (Islamic Studies). Yafuna diguli eya Bachelors n’eya Masters okuva mu Makerere University. Okusinziira ku BugandaWatch byezudde ku Yintaneti nga Kasule yeyogerako, y’eyongerayo mu International Islamic University Malaysia okufuna diguli ya Ph.D. Okuva mu 2014 okutuusa leero, Dr. Kasule abadde asomesa mu Islamic University in Uganda, e Mbale.

Okubuliriza kwa BugandaWatch ku Dr. Kasule byeyeyogerako era kulaga nti talina bumanyirivu  mu mulimu gwa kukulembera oba kulakulanya kitongole (department oba faculty) mu ttendekero ery’edaala lya univasite.  Prof. Kasule ategeeza nti, yakolako nga Director w’esomero eriyitibwa NorthStar Success Academy. Naye olukalala lwa masomero n’amatendekero amatongole mu Uganda olwa 2016 BugandaWatch lweyafunyeeko kopi, NorthStar Success Academy telikyariwo.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+