BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News

Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti omulimu gw’okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda e Kasubi Nabulagala, ogubadde ogutambula bulungi, ate gwazeemu okwesiba. Kino nga kyabaddewo oluvannyuma lw’akulira omulimu guno, Mw. Jonathan Nsubuga, okusindika abakozi abazimba mu luwummula olutali lwa bbanga gere, kubanga Mengo egaanyi okuta ssente z’okubasasula.

Okusinziira ku nsonda BugandaWatch zeyesiga obulungi, abakozi abazimba basuubizibwa okusasulwanga mu budde. Kyokka kati babanja omusaala okumala ennaku 10 nga ssente zibuze. Mw. Nsubuga, kwekusalawo okubayimiriza okumala ebbanga eritali ggere kubanga Mengo emutegeeza nti terina ssente zakubasasula.

Okuzaawo amasiro ga Bassekabaka ba Buganda kubadde kutambula bulungi okumala ebbanga era ng’omulimu omunene ogw’okusiba ebizizi gubadde gusuubirwa okuggwa mu December was 2017 (Ssoma: Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka).

Okusalawo kwa Mengo okuyimiriza okusasula abakozi abazimba Muzibu Azaala Mpanga kutegeeza nti n’omulimu gw’okusereka, ogubadde gusuubirwa okutandika mu January wa 2018 nagwo guyinza okulemesebwa.

Guno ssi gwe mulundi ogusoose omulimu gw’okuzaawo amasiro okuyimilira olw’ebbula ly’ensimbi, wadde nga Katikkiro JB Walusimbi yaleka alaze nti kumpi ssente zonna ezeetagisa okumaliriza okuzimba weeziri. Ate oluvannyuma ne Katikkiro Mayiga yennyini nakungaanya obuwumbi obusukka 10 mu kukingo ky’Ettofaali, kyeyatandika n’omulamwa gw’okumaliriza amasiro.

Abaganda 5 bonna BugandaWatch beyayogeddeko nabo ku nsonga za Kasubi baalaze nti eby’amasiro  okuggwa tebakyabirinamu suubi. Omu kubo, eyagambye nti ye Muzamiru Ssebuyira, yavunaanye ba Jjajja abakulu b’ebika. Yagambye nti, “Empeewo za ba Jjajja ba Buganda zifuuwa busungu. Kale Abataka bakkiriza batya ba nnamawanga okusensera ebika byaffe nebatuuka n’okubakkiriza okwefuga omulimu gw’okuzaawo Kasubi? Bekikwataako bwebataave mu kutyoboola nnono empeewo ziyinza okubajjako obuyinza obutono ennyo bwebalina”.

Kinajjukirwa nti nga 17 May 2017, Katikkrio Mayiga yakyatukiiriza eri empapula z’amawulire mu Uganda nti, mu 2013 yalimba Kabaka mu bugenderevu bweyamusubiza nti amasiro gaali gajja kuggwa mu mwaka gumu (Ssoma: Mayiga proudly says in a recording that he intentionally lied to Baganda and Kabaka about Kasubi Tombs).

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Nsobya Lubwama

    Nze nzikiriza nti gavumenti ya Buganda eyina okusomozebwa nadala muby’ ensimbi. N’ olwekyo, Buganda yeetaaga obuwagizi bwabuli muganda yenna waali, kasita aba nga yenyumiriza mu bwakabaka. Okusonga engalo n’ okusekerera ebigannyi tekijja kutuusa Buganda kuntikko. Ffenna tusituke kukwatire wamu ne katikkiro. Teri atukiride 100% ate abaliwo kati ffe tuyina okuzimba eggwanga lyaffe. Kindly mobilize the Banganda to build Buganda