BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga yakulira omukolo ogw’okukyusa obakulembeze ba Nkobazambogo Uganda, ekibiina Mengo kyeyatondawo okudibya ekya Baganda Nkoba za Mbogo Students Association (BANKOSA), oluvannyuma lw’ekiba ttaka n’okusiba Kabaka emimmwa (Mengo kyeyatuuma MOU) mu 2013. Olwayawukana ne Museveni Mw. Mayiga nalagira nti ekibiina kya BANKOSA kirina okukkiriza abatali Baganda okuyingiramu n’okufunamu obukulembeze. Omulimu gw’okumenya BANKOSA yagukwaasa minisita wa bavubuka n’emizannyo, Henry Ssekabembe (Soma: Mengo Minister Denies Changing Nkoba za Mbogo Logo on Purpose, Does not Promise to Return to Old Logo ne  Nkoba za Mbogo Emblem was Changed on Request of Police, Buganda Minister Says Now).

Omukolo gw’okukyuusa abakulembeze baguteeka mu kisenge ba minisita b’Emengo mwebateseeza (cabinet room). Abakulembeze abapya balayizibbwa okubeera abawulize eri Kabaka awamu ate ne Katikkiro era n’okukuuma ebyaama bya Buganda. Ekirayiro kyafaanana n’ekyasiba emimwa gy’ababaka mu Lukiiko lwa Buganda awamu n’ababaka ba Ssabasajja ku mawanga (abafugibwa Katikkiro Mayiga).  Emikutu gy’amawulire Mengo gyafuga awamu n’emilara, gisasaanyizza nnyo amaloboozi n’ebifananyi by’okulayira kuno. Mu ngeri eyalabise nga Katikkiro alina gwayagala okumatiza nti abakulembeze ba bavubuka mu Buganda bali mu ngalo ze. Omuntu ono teyabadde Kabaka Mutebi.

Oluvannyuma lw’ennaku 2 zokka, ku lunaku lwa Abavubuka nga 10 November 2017, Ssaabasajja yatangaaza mu ngeeri eyamagezi ennyo nti ye tayagala kusammulirwa bya Mayiga eby’okwagala okufuga ebirowoozo n’ebikolwa by’abavubuka Abaganda. Kabaka ye abavubuka yabakubiriza okwekiririzaamu, okuba abavumu, okusomesa abalala, okutaasa abalala era n’okuvaayo okukulembera bannabwe (Ssoma: Obubaka bwa Kabaka ku lunaku lw’abavubuka bubanja eby’okulabirako ebirungi e Mengo).

Omuyizi mu Ndejje University ayitibwa David Sekamatte yeyalayidde  okugondera Katikkiro Mayiga mu kifo ky’obwa ssentebe wa bassentebe ba Nkoba za Mbogo Uganda.  Yazze mu bigere bya Matthew Mbajjo Sempa owa Makerere University.

Ba ssentebe ba Akaliba Akendo Uganda, eya Mengo

Mw. Sempa ye ekifo kino Mengo ye yakimuwa oluvannyuma lw’okuyamba minista Sekabembe, okugobesa Amina Nakimwero, okuva mu ttabi lya Nkoba za Mbogo erya Makerere University. Nakimwero baamulanga gwa kwetaba mu kwekalakaasa kw’abalwanirira ekitiibwa kya Kabaka okwaliwo nga 28 September 2016 (Ssoma: Mengo in desperate fight to control damage after Nkoba za Mbogo student protest and accusations).

Nakimweero yeegatta ku ba memba ba BANKOSA abekalakasiza ku Bulange olw’obutali bumativu ku ngeri Katikkiro Mayiga gyeyali akuttemu ensonga ya Kabaka Mutebi okuwawaabirwa mu kooti za Uganda.

Oluvannyuma lw’okwekalakaasa, Mengo yakola kawefuube wa mannyi nnyo okugobesa Nakimweero ne banne Timothy Ssemanda, Ibrahim Wasswa Ssemanda ne Joseph Njuki Musaazi okuva mu masomero mwebaali. Amasomero gagaana okubagoba olwo Mengo nesalawo kugobesa Nakimweero mu Nkoba za Mbogo eye Makerere ng’eyita mu ssentebe Sempa.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+