BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Ssabasajja Kabaka Muwenda Mutebi II yetabye ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Omukolo guno gwabaddewo nga 10 November, 2017 e Mukono, ku mbuga y’Essaza ly’eKyaggwe. Omukolo gwetabiddwako Abataka abakulu abobusolya, Namasole, Abaami ab’amasaza, ba Minisita, bannadiini, ab’olulyo olulangira, abakiise mu Lukiiko, ebibiina by’abavubuka Abaganda wamu n’abavubuka okuva mu buwangwa obwenjawulo mu Uganda.

Kabaka Mutebi yasengese obubaka bwe mu miteeko ena.

Okusooka, yasabye abavubuka okwekilirizaamu era n’abategeeza nti ennaku zino ensi etambulira mu kusoomoozebwa okwenjawulo, okwetagiisa abavubuka okuba abavumu era abatenyooma, okusobola okutambaala embeera eyo.  Yabagumizza nti balina obusobozi okukyusa n’okukulakulanya eggwanga ssinga bewaayo ate nebakolera wamu. Era yasabye abavubuka okwenyigira mu kusomesa abantu ku bigenda mu maaso ku ggwanga lyabwe, eddoboozi ly’abavubuka liwulirwe ku buli mbeera esoomooza Obuganda.

Eky’okubiri Kabaka Mutebi kyeyazizaako kwekkubiriza abavubuka betegekere okuba abakulembeze. Yagambye nti mu buli mbeera yonna, kyetaagisa okubaawo abavubuka abesowolayo okukulembera bannaabwe, okubalaga ekkubo ettuufu. Yayongeddeko nti abavubuka basaanye bavengayo okutaasa abalala nga boolesa obukulembeze obw’amazima n’obwesimbu ate nga tebeefaako bokka wabula okuweereza kulw’abalala.

Ku nsonga ey’okusatu, Kabaka yakubirizza abavubuka okuyigira ku byafaayo eby’eggwanga lyaffe, amawanga ga Africa n’ensi ezenjawulo okusobola okubalungamya n’okubayamba obutagwa mu nsobi n’obutefuulira balala. Yayongeddeko nti ebyafaayo bituyamba bulijjo okumanya gyetuva negyetugenda.

Bweyatuuse ku nsonga ey’okuna, Ssabasajja yakubirizza abavubuka okunyweerera ku mulamwa [gwa Buganda]. Wano yaggumiza nti kikulu nnyo okulwanyisa omuze gw’omuntu okw’eyagaliza yekka, oguli mu bakulembeze n’abantu baffe abatono. Yatangaziizza nti, abantu okweyagaliza bokka kireetedde abakulembeze okuva ku mulamwa ogw’obumu n’okulwanilira amazima.

Kabaka in group photo with Mengo’s Uganda youth leaders

Ng’amaliriza okwogera kwe, Ssabasajja Kabaka yattukiza ensonga y’enfuga eya Federo bw’eyagamba nti n’abalina ebirowoozo ku ensonga ya Federo bakkirizibwe okubitwala mu palamenti ya Uganda, nabyo biteesebweko. Yajjukiza nti okubuliriza kw’akakiiko k’omulamuzi Odoki kwakakasa  dda nti abantu baali betaaga enfuga ya Federo.

Obubaka bwa Ssabasajja bujjidde mu mbeera erimu ebbula ly’abakulembeze Abaganda abasobola okuba eby’okulabirako eri abavubuka abaagala okutukiriza ensonga Kabaka  zeyayogeddeko. Ebbula lino lisinga kulabikira mu ngeri Mengo gyekulembezaamu okufuna ssente ezamangu, okuwamba obuyinza ku Nnono n’obuwangwa bwa Baganda, okusanyusa gavumenti ya Uganda n’okuyigganya buli atakkiriziganya na Katikkiro ku nsonga yonna. Obubaka bwa Ssabasajja bubanja Mengo okuba n’abakulembeeze abagwanira okuba eby’okulabirako ebirungi eri abavuka Abaganda abagezi era abasobola okweloworeeza, kibasikirize okujjumbira ensonga Kabaka zeyayogeddeko.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+