BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Waliwo obujulizi obuwandiike nga busonga mu Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, nga ali wakati mu lukwe lwa gavumenti ya NRM okubba ettaka ly’Abaganda ab’ekika kya Mmamba Kakoboza e Ntebbe mu Busiro.

Obujulizi buno BugandaWatch ebusanze mu kunoonyereza kwekoze okuva amawulire ku nkayana wakati w’ekitongole kya Uganda Civil Aviation Authority (UCAA) ne Mmamba Kakoboza ku ttaka lino lwegatandika okufuluma ku mikutu gy’amawulire mu Buganda n’awalala, sabiiti nga 2 eziyise.

Mu kubuliriza, BugandaWatch yayambibwaako omu ku bakozi ba UCAA abawaggulu ddala. Wamu n’omu ku bakungu mu Mmamba Kakoboza abasemberera Omutaka Nankere. Ono yafunidde BugandaWatch kkopi z’ebaluwa eziragibbwa wansi, oluvannyuma lw’okumukakasa nti BuganaWatch yakusiririkira amannya ge.

Sabiiti nga 2 eziyiseewo kati, omukozi wa UCAA yakakasa BugandaWatch nti abakungu mu ekitongole ekyo baatandika okubuliriza ku bwanannyini bw’ettaka lyonna eririnaanye Entebbe Airport nga entegeka y’okugaziiya ekisaawe ekyaali nto mu 2013/2014.

Yayongerako nti, “Abakulu ba Civil Aviation baategeera mangu nti ettaka lya Mmamba Kakoboza era kuliko eby’obuwangwa ebikulu eri Abaganda. Wabula ekiseera ekyo, baalina ddiru endala zebagoba ne Mengo, ng’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu Lubiri lwe Mengo. Kyebaava bogera butereevu ne Katikkiro eyali mu kiti kya munywaanyi wabwe. Katikkiro yabamatiza nti tajja kukiriza bya buwangwa bwa Baganda kulemesa nkulakulana ya Uganda, era bakiriziganya ku ssente era nakakasa nti yali ajja kukola ku bya Mugula ne banne.”

Naye omukozi wa UCAA yagattako nti, “Kubanga nze ensonga saaziri wakati, simanyi oba Mayiga ssente zeyasala zaali mmeka era oba aba UCAA bazimuwa.”  Ebigambo bye biwagirwa ebaluwa Katikkiro Mayiga gyeyawandiikira Omutaka Mugula, Charles Sserwanja nga 25 November 2015.

Nga 25 November 2015 Katikkiro Mayiga yawandikiira Omutaka Mugula ebbaluwa nga amulagira akolagane n’abakungu b’eMengo, “wamu n’ab’ekitongole ekya Meteorological Authority ku nsonga ey’okufuna ekifo webanateeka omulongooti gwaabwe mu ngeri y’okulongoosa entabula z’ennyonyi mu Uganda”. Mu baluwa y’emu, Mayiga yategeeza Omutaka Mugula mu lulimi olw’ekkaze (nga tasabye) nti, “Awonno, mbasubiira okukolagana obulungi n’abantu bano babalage ekifo ekituufu ekisaaniramu emilongooti gino nga tukolaganira wamu”.

Mu mateeka ga Uganda, Katikkiro talinaamu kifo oba buyinza bwonna butongole kubanga constitution ya Uganda eya 1995 yajjawo Obwakabaka bwa Buganda mu mateeka. Ate ne mu Nnono ya Baganda, Mayiga talina kakwaate ku ttaka lya ba Mmamba Kakoboza. Era BugandaWatch yakitegeddeko nti abataka Mugula ne Nankere, akulira ekika ky’eMamba Kakoboza, ekiragiro kya Mayiga kyabawa ekifanaanyi nti Katikkiro takyafaayo kumenya Nnono oba mateeka ga Uganda, bwebituuka ku ssente.

Omutaka Nakerere oluvannyuma yategeeza Mw. Mayiga mu butongole nti Katikkiro talina kakwaate oba buyinza ku ttaka lya bika mu Buganda. Nayongerako nti mu kiseera ekyo, UCAA yali emaze okubba ettaka ly’entebbe za Mugula n’eryaanyi, nga bayambibwaako police, era nga abataka bali bagiwabidde mu kooti za Uganda.

Omulamuzi ab’Emmamba gyebatwaala omusango yabanabiira mu maaso n’agaana okukangavvula aba UCCA, ababba etaka lya Mugula. Wabula nalagira ab’Emmamba Kakoboza bagende bategeregane n’ababbi aba UCAA ebweru wa kkooti. Ab’eMmamba Kakoboza nebesanga mu mbeera ey’okwegayirira ababbi ba UCAA ku yika 91 zeyabba, ebaliyirireko yiika 67 zeyatandika okuzimbako ate ebaddize yiika 24 okuli entebe za Mugula ez’obuwangwa

Wabula kati aba UCAA  bagamba, mu lulimi olw’obuteguya, nti si betegefu kuliyirira abataka, kubanga bo bategeregana dda ne Katikkiro. Ate ye minister wa NRM afuga UCAA, Muky. Azuba Ntege, yatuuse n’okuyita abakulu b’ebika bya Baganda “Abantu abatategerekeka ki kye baliko”.

Amavannyuma BugandaWatch gefunye olutalo lw’ettaka ly’embuga ekuuma entebbe za Mugula, galaga nti Katikkiro Mayiga, alabika kati agezaako kukubiriza bataka ba Mmamba Kakoboza nti eby’okulwanyisa gavumenti ne UCAA babiveeko kubanga kuba kumala biseera. Mu kabaluwa omusasi wa BugandaWatch keyasomeddwa, Mayiga agamba Nankere nti, “Ssebo gavumenti teremwa bweeba yetaaga ettaka. Kale tonnenyanga ssenga litwalibwa nga temufunyeemu wadde ensimbi”.

Webituuse, kirabika abataka b’Emmamba Kakoboza sigalidde kusalawo oba bakkirize Mayiga abeeko kabawa ku ssente ezaava mu ttaka ly’abwe zebatamanyi. Oba si kyo bayinza okutereka ebyaapa byaabwe, nga Abaganda abalala abamu bwebazze bakola, mu suubi nti amateeka gajja kudda mu Buganda, basobole okununula ettaka ly’abwe oba okuliyirirwa ssente ez’ensonga.

Tekinategerekeka lwaaki Mugula ne Nankere tebaasobola kukunga Baganda balala, naddala abakulu b’ebika okubalwanirako lutalo luno wadde okukubira Kabaka omulanga akpme ku Katikkiro we.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+