BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Hajji Hussein Kyanjo y’omu ku babadde ku kisawe Entebbe okusiibula Muky. Betty Bakireke Nambooze, eyasitudde okugenda e Buyindi afune obujanjjabi, oluvanyuma lw’okusimatuuka abasirikale ba Uganda abaali bagezaako okumumenya enkizi.

Nambooze yawonera watono okutemulirwa mu kizimbe kya palamenti ya Uganda nga 27 September 2017, amagye agakuuma president Museveni bwegayingira mu kisenge ky’olukiiko  okukuba abakiise abaali bawankanya okuggya ekkomo ku myaka egikugira omuntu okwesimbawo ku bwa president.

Nga 21 October 2017 omusasi wa BugandaWatch yakyakira Muky. Nambooze mu kalwaliro gyabadde, akali e Bugoloobi naye yamuzanga ali mu bulumi bungi nnyo naddala mu mugongo. Nambooze yategeeza omusasi nti talina kubuusabuusa, abamumenya enkizi bali bazze n’ebiragiro by’okumutta ku lunaku olwo.

Yannyonnyola nti, “Okulwaanagana bwekwatandika nze nakwebalama mangu kubanga nali nfunye okulabulwa abantu benesiga nti waaliwo abatujju abaalina ebiragiro okunzitira mu kavuyo k’okulwanagana okwaali kusuubirwa mu kisenge omuteesebwa. Ababaka Mpuga ne Kasibante bagezaako mangu okunfulumya ekisenge omuteesebwa.”

Muky. Nambooze yayongerako nti, Mpuuga ne Kasibante bali banaatera okumutuusa obulungi ebweeru, omuduumizi wa police mu Kampala, Frank Mwesigwa, nabatebuka. Yabuuza mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Ono Nambooze ani amukkirizza okutoloka?” Mu kaseera katono, abasajja abaali bambadde ebyambalo eby’abakazi bajja nebatandika okukuba Nambooze n’okumunyiga ennyo omugongo nga bakozesa bi namagalo (gloves) eby’ekyuuma, mu ngeri egezaako okukutula enkizi ye.

Okusinziira ku Nambooze, “Katonda yekka yeyamponya kubanga, baali babulako katono okunzita, abasirikale ba police eyabulijjo abali bayitawo batulaba nebajja bannunula, olwo abatujju nebemulura.”

Ku lugendo olumututte e Buyindi, Nnabooze awerekeddwako omwami we, Mukasa Bakireke n’omu ku basawo ababadde bamulabirira e Buganda.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+

Comments are closed.