BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Ku lwa 28 October 2017, olukiiko oluddukanya Muteesa I Royal University (MRU) nga lukulemberwa Dr. Frank Sebbowa, lwasisinkanye abakulembeze ba bakozi n’abayizi b’etendekero eryo. Guno gwe gwabadde omulundi ogwasoose okubaawo okwogereganya nga kuno bukyanga yunivasite eggalwa nga 25 October 2017. Ensisinkano eno yabaddewo ku ttabi lya MRU e Kakeeka, Mengo.

Dr. Frank Sebbowa yalangiridde nti olukiiko lwa MRU lw’akulembera lwasazeewo ebintu bino wammanga:

  1. Amatabi gonna aga yunivasite okuli ery’eKirumba mu Buddu nery’e Kakeeka gakuggulwawo nga 2 December, 2017.
  2. Tewali muyizi ajja kukkirizibwa kudda nga tanaba kusasula bisale byonna ebimimubanjibwa.
  3. Abayizi bakusoma olusoma olusooka okutuuka mu Febuary wa 2018, bawummulemu ennaku 14,  olwo bakomewo okusoma olusoma olw’okubiri.

Wabula Dr. Sebbowa yewunyisiizza abakozi bweyagaseeko nti ate bo balina okuddamu okusaba emirimu, n’empapula zaabwe ziddemu okutunulwamu. Abakozi kino bakiwakanyizza nga bagamba nti kya kubatisatiisa kubajja ku mulamwa. Ate era kakodyo ka kugoberamu banaabwe ababadde abasaale mu kuwakanya obutali bwenkanya mu nzirukanya y’emirimu.

Ate ye Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter Mayiga, yasinziira mu lukiiko lw’abamawulire lweyatuuziizza nga 28 October 2017 e Mengo, n’ategeeza nti ensonga za MRU azilondoola. Era yasubiizza nti wakuzimaliriza mangu ddala.

Ebyo nga bikyali awo, ensonda ezesigibwa e Mengo zategeezezza BugandaWatch nti olukiiko lwa baminisita ba Buganda lwatuula nga  27 October 2017 e Mengo, nerusalawo okuwummuza Vice Chancellor wa MRU, Prof. Arthur Serwanga. Ensonda zezimu zanyonnyodde nti ba minisita balabye nga okuwummuza Serwanga y’emu ku ngeri gyebayinza okutebenkezaamu MRU.

 

 

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+