BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Yunivasite y’Obwakabaka bwa Buganda,  Muteesa I Royal University (MRU), yagadwaawo nga 25 October 2017, ekiretedde emitima gy’Abaganda bangi okwewanika. Okusinziira ku kusalawo kw’okukiiko oluddukanya MRU, olukulemberwa Dr. Frank Sebbowa, ettabi erye Kakeeka, Mengo mu Kyaddondo lyagaddwa nga 24 October, 2017. Ate nga n’ettabi lye Kirumba, Masaka mu Buddu eryaggalwa nga 25 September, 2017  lya kugira nga lisigara liggale.

Ebaluwa eyatereddwako omukono gwa Vice Chancellor, Prof. Arthur Serwanga, yategeezeezza nti olukiiko oluddukanya yunivasite lwamulagidde agiggale oluvannyuma lw’abakozi okusalawo okwediima.  Abakozi abediimye  balayidde obutadda ku mirimu okutuusa nga basasuddwa emisaala gyabwe gyebamaze emyeezi 4 nga tebasasulwa. Abasomesa bebamu bagamba nti tebalina bikozesebwa mu kusomesa bayizi, ekyongedde okukalubiriza eby’enjigiriza ku Ssettendekero ono. Ebaluwa ya Professor Serwanga teyayatudde lunaku MRU lwenaggulwa.

Ebaluwa eggala MRU

Okusinziira kw’omu ku basomesa ataayagadde kumwatukiriza linnya, newankubadde yunivasite eno ebadde n’ebizibu okuva lweyatandikibwawo mu 2007, ebizibu byayo byeyongera okuva mu 2013 Obuganda bwebwafuna Katikkiro omupya. Agamba nti Katikkiro Mayiga yassaawo enkola eyafuula MRU bizinensi omuva  ssente  eziyamba okuyimirizaawo Obwakabaka. Yayongeddeko nti kino kyekyaviirako okuleeta Vice Chancellor assa essira ku kukola ssente okusinga ko ku mutindo gw’obuyigirize abayizi bwebafuna okuva mu MRU.

Riot Police nga batuuse ku MRU

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+