BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Mwanyinaze Namayega,

Nsuubira nti muli bulungi, okusiziira ku Kojja Lubwama bye yangamba ku Friday. Naffe tuli balamu era weekend ewedde nagendako e Pittsburgh okukyalira mukwanogwo. Yantwaala mu clinic ye era nnungi nnyo. Gyenafunira n’empiso egema flu (oba ye lubyamira?) eyansookera. Mbu ejja kunyamba nnyo obutafuna flu mubi nnyo mu winter.

Kati kangende ku mulamwa gwewansaba okuwandiikako. Ebaluwa omuyimbi waffe Bobi Wine gyeyawandikiira “Abavubuka ba Uganda”.

Namayega, mmanyi tombuusabuusa  ku nsonga ya Bobi Wine okuba nga ye muyimbi ansigira bonna mu Buganda, okuva Kisaakye lweyaffa.

Naye obutafanana nga ggwe, nze  Bobi Wine, omubanda wa Kabaka, ne Robert Kyagulanyi munnabyabufuzi eyawandiikira abavubuka ebaluwa, mbalaba nga bantu ba njawulo nnyo.  Ate oba munabyabufuzi Kyagulanyi mwetegefu okufa nga akuuma  constitution ya Uganda ya Museveni. Ate nga constitution eyo y’ennyini bannamawanga mwebayita okukumiira Buganda mu buwambe, okujooga Kabaka, okunyaga ebintu bya Baganda eby’obusika awamu n’okutujolonga (to humiliate us). Werabidde nti omuyimbi Bobi Wine amaze myaka mingi nga yeyozaayoza okuba Omuganda era nga akubiriza abavubuka Abaganda okwagala Buganda ne Kabaka? Era y’ensonga lwaaki amanyibbwa nnyo nga Omubanda wa Kabaka.  Tekikwewuunyisa okuba nti ebaluwa ya Robert Kyagulanyi erina emiko 6 n’ebigambo 3,000 naye teriimu bigambo “Buganda”, “Baganda” oba “Kabaka”, wadde omulundi ogumu?

Mwanyinaze, ebintu bibiri byenkusaba wetegereze ennyo ku baluwa ya Robert Kyagulanyi eri “Abavubuka ba Uganda”. Ekisooka, nze ndaba etangaaza nti munnabyabufuzi Kyagulanyi atambulira mu buwufu bwa bannabyabufuzi bangi Abaganda okuva mu 1960. Bakozesa ebigambo “Kabaka” ne “Buganda” ng’amadaala okutuuka ku lujjuliro  lwa Uganda (palimenti oba cabinet) okugabanirwa Buganda n’ebyaayo. Ekigambo “Buganda” bakyerabira nebatandika okunoonya obuyinza n’obugagga obwa ssekinoomu mu Uganda.

Eky’okubiri kyendabye mu baluwa ya Robert Kyagulanyi by’eby’okulabirako ebingi nti munabyabufuzi ono ayinza okuba nga akiririza (romanticizing) mu byafaayo bya Uganda ebitaaliwo. Buli kyayogera kiyimiridde ku Bangereza ne gavumenti za Uganda byebazze basomesa mu masomero okuva mu 1962 (mu nkola ya propaganda),  nga bagenderera okutta omwooyo gwa Buganda mu bavubuka. Okukulaga kyentegeeza n’okubuula kwa Sentamu, kankuweeyo eby’okulabirako bino 4.

1. Exactly 55 years ago, the colonialists handed over this country to our grandparents (Emyaka 55 egiyise, abafuzi b’amatwaale bakwasa ba Jjajja ffe ensi eno)

Namayega, funayo esaawa nga 1 oba 2 ogende mu Google onoonyereze ku “buganda independence january”. Ojja ku zuula bwino akakasa kyenawandiikako week eyayita nti, okuva nga 1 January 1961 Buganda yali nsi eyefuga. Era nga Abangereza bakozesa okutiisatiisa n’amagye, ab’enkwe mu Mengo awamu n’obukodyo obulala okukaka Ssekabaka Muteesa nakkiriza nti Buganda ekkirize okubeera mu Uganda ku nkola ya Federo .

2. Infrastructure was in place, having been built by the British (Ebintu nga amalwaliro, yunivasite, namaanyalaze Abangereza bali babizimbye)

Abangereza baleka bazimbye ebintu nga Makerere University, Mulago Hospital, power station e Njeru, railway,  Luzira Prison, Entebbe airport, n’enguudo ennene mu Uganda. Naye byonna babizimba ku ttaka Buganda lyeyabawa kunkola eya liizi. Ebweru wa Buganda bazimbayo ebintu bitono –  okusinga district administration, eddaliro limu oba abiri buli kitundu, nesomero eddene nga limu, police nebilara bwebityo.

Yo Buganda yali yezimbidde ebintu ebisinga ennyo ebya Uganda yonna okutwalira awamu obungi. Ebizimbe bya masaza n’amagombolola mu Buganda, Bulange n’embiri za Kabaka byonna Abaganda bebabyezimbira. Era n’amalwaliro amanene nga Entebbe Grade B, Bombo, Mityana, Masaka, Mubende, Kiboga, Nakasongola, namalala mangi gali ga Buganda government ate nga tegasasuza balwadde. Kyekimu ne police, amakomera, emyaalo ku nyanja, amasomero agatali ga diini, enguudo ezitafulima mu Buganda, n’ebilara bingi.

3. Institutions of government functioned – the public service, the police force, public transport (Ebitongole bya government byali bikola)

Omwaka 1962 gwatuuka nga ebitongole (institutions) bya Buganda bimaze emyaka nga 50 oba okusingawo nga bikola. Ebimu n’Abangereza babisangawo mu 1880s. Wabula ebitongole bya Uganda byo byaali tebikolerangako mu mikono gya baddugavu. Ate olw’okutya Buganda okwekutulako, Abangereza ne babireka mu mikono gya batali Baganda nga Obote. Ekiraga nti ebitongole bya Uganda byali binafu nnyo, Uganda yamala emyaka egitaweera 4 Milton Obote nasazaamu constitution olwo nakozesa amagye ga Uganda agaali gatakyagoberera mateeka, okunyaga ebintu bya Buganda. Nnyabo, okumanya Buganda ngagga, ne kakati bakyanyaga, nga bwewalaba mu MOU eya 2013.

4. The Obote, Kiwanuka generation fought for Independence, the Museveni generation fought against instability rising out of bad politics (Obote ne Kiwanuka balwanirira obwetwaaze ate Museveni ne banne balwanirira okuleeta obutebenkevu)

Mwanyinaze, Obote bwaaba yali alwanirira Uganda kwefuga, lwaki ate wayitawo emyaka esatu n’ekitundu ggyoka najjawo constitution? Ye Obote ne Kiwanuka abali bakiririza mu bantu okwefuga ate lwaki bawakanya nnyo eky’ensi Buganda, eyali ebaddewo emyaka egisukka 700 okulekebwa yefuge?  Museveni ye takiriziganya na Sentamu akimuteekako nti yalwanirira obutebenkevu mu ggwanga. Anti ye (Museveni) yalabula dda abo abamwesibako nti yalwanirira Uganda, bamujjeko akajanja kubanga ye buli kyakola aba yelwanirira yekka na famile ye.

Okufundikira

Nga maliriza mwanyinaze, kansubire nti ebirowoozo byange ne bwooba nga tobisanyukidde, obisomye n’obwegendereza era obitegedde. Jjukira nti ggwe wansaba mpandiike ku mulamwa guno ate ng’omanyi nti nze ekitiiyo sisobola kukiyita “kijiiko kinene”.

Tofaayo Bobi Wine y’akyali omuyimbi wange namba emu mu Buganda. Naye nina obuzibu n’ebyafaayo bya Uganda byagezaako okusomesa abaana Abaganda ate nga tebibangawo. Kiba kya nnaku ssenga Kyagulanyi teyasomesebwa bulungi byafaayo bya Uganda ne Buganda era nga yawandiise mu butamanya. Naye ate kifuuka eky’obulabe eri Abaganda ne Kyagulanyi bwaaba nga amanyi amazima ate nadda mukutambuza propaganda w’abalwanyisa Buganda.

Banadabire nnyo nnyabo, okutuusa lwe tunaddamu.

Awangaale Ssabasajja Kabaka!

Joe Muyanja
joemuyanja@bugandawatch.com

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Shifrah N.

    Ssebo Mwami Muyanja webale nyo okusomesa.

    Naye byona wetegereze oja kulaba nga Mengo yeyetamya Abaganda nga Bobi nebanoonya emikisa mu Uganda wade nga nakyo kifulukwa. Abasaja abaliyo kati mizimu gya Kaggwa, Kisingiri ne Mugwanya. Banyaze Obuganda okuva lwebatta Mwanga mu 1900.

    Awangaale Kabaka