BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo, Owek. Apollo Nelson Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda olukulu olwatudde e Mengo nga 16 October, 2017 n’atangaaza ku tteeka ly’ettaka gavumenti ya NRM lyeyagala okuyisa . Etteeka lino liwa gavumenti ya Uganda obuyinza okutwala ettaka ly’omuntu okulikozesa nga tesoose kukaanya ne naye ku muwendo gw’ensimbi gw’esaana okumuliyilira. Kyeyavudde akubiriza Abaganda okulwanyisa etteeka lino, kubanga lijjidde mu mutima gwa kutwala ttaka lya Baganda.

Owek. Makubuya yanyonyodde nti, emu kunsonga gavumenti ya NRM zeyawa lwaki yetaaga okutwala ettaka nga tesoose kukkaanya naye, kwekuba nti nnyini ttaka oyo ayinza okuba nga asaba ssente okusinga ezandibadde ez’obwenkanya. Olwo obutakaanya nebulemesa omulimu okugenda mu maaso awamu n’enkulakulana.

Makubuya yalabudde nti etteeka lino liwa gavumenti ya Uganda obuyinza okutwala mu Kkooti omuwendo gwa ssente gwonna yo gweeba esazeewo nti gwegusaanidde okuliyila omuntu gwetutteko ettaka. Ekyo nga kiwedde, olwo nannyini ttaka ne gavumenti nga lwebatandika buli omu okuwoleza kkooti, esalewo oba nga ssente gavumenti zekiriza okusasula za bwenkanya. Ate ng’ettaka lyatwaalibwa dda

Yayongeddeko nti okusinziira ku lukalala lwettaka gavumenti lyegamba nti bannanyini lyo baliremedde nga baagala ssente ezisukkiridde, lyonna liri mu Buganda. Ekyo ye nga kimukakasa nti ekigendererwa ky’etteeka lino kubba ttaka ku Baganda. Era nti olukalala lwa gavumenti lulaga nti  ettaka lyeyetaaga liri mu bifo nga: Bbanda ku 6, Kinnawattaka, Kasokoso, Kigo Lunya, Munyonyo, Masanafu, Namungoona e Kyaddondo n’eNkokonjeru mu Kyaggwe.

Nga awunzika, Owek. Makubuya yagambye nti kkooti za Uganda zirwisa nnyo emisango ate nga n’obwenkanya emirundi mingi bubula.  Kyeyavudde akubiriza Abaganda okulwanyisa etteeka lino, kubanga lijjidde mu mutima gwa kutwala ttaka lyaabwe. Wabula Makubuya teyalambuludde bulungi bukodyo bwonna bwebasaana kukozesa, naddala oluvannyuma lw’amawulire okufuluma ababaka abawerako abeyita abakikirira Buganda mu palimenti ya Uganda balimba bulimbi nti Baganda so nga ba nnamawanga (Laba: Munamateeka Nsibambi alabudde minister Nankabirwa, ba MP bangi mu Buganda balimba si Baganda).

Okunonyereza BugandaWatch kwekoze kulaga nti, kisoboka okuba nga erimu ku ttaka eliri ku lukalala Owek. Makubuya lweyajulizza lyandiba mu mikono gya ba bannamawanga, so si Baganda. Ate nga lyonna awamu ttono nnyo okugerageranya n’erya mailo 9,000 (ebitundu 50%  eby’ettaka mu Buganda) abakungu be Mengo lyebakyalemeddwa okunnyonyola gyeryadda oluvanyumya lw’olukwe lwa MOU ya 2013.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+