BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Bwosoma ekitabo kino, kyangu okulagula Mengo gyatwaala Buganda
Mwannyinaze Namayega, Nsonyiwa akasirikiriro naye omugongo gwaddamu okunnuma era nga...
Waliwo essuubi Muteesa I Royal University okugulawo nate mu December, Vice Chancellor omupya ayinza okuyingirawo esaaawa yonna
Abasomesa n’abakozi ba  Muteesa I Royal University (MRU), basisinkanye...
Okuzimba amasiro ga Bassekabaka e Kasubi gwesibye buto, Mengo egamba nti tewali ssente
Kulw’okubiri nga 13 November, 2017, BugandaWatch yafunye amawulire nti...
Mayiga yalayizza abakulembeze b’abayizi ba Buganda bamugondere, Kabaka ye nabagamba kwekirizaamu na kuba bavumu
Nga 8 November 2017, Katikkiro wa Buganda, Mw. Charles Peter...

Mwannyinaze Namayega,

Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe tubadde bulungi okujjako nti obudde butandikiriza okunyogoga mu matobotobo, era ka jacket sikyakaleka waka.

Nga bwenasuubiza, kankuwe bwiino ku nsonga y’amefuga ga Buganda (Buganda Independence) n’amefuga ga Uganda (Uganda Independence). Omulamwa guno mukulu kubanga buli Muganda kirungi abeere n’omukisa okumanya amazima amatuufu ku nsi ye ey’obusika engeri gye yatuuka mu matigga gerimu.

Amefuga ga Buganda

Amazima gali nti Buganda yefuga nga 1 January 1961 era olwa 8 October 1962 lwatuuka nga Abaganda bangi abamanyi nti ensi yaabwe erina n’ekitongle ekikola ku nsonga z’ebweeru (foreign affairs).  Ebya 8 October byali bya kiguumaaza (propaganda) okukweeka amazima nti Abangereza batiisatiisa n’okukaka Buganda okwegatta ku mawanga amalala okukola Uganda.

Okutangaaza obulungi, kankuviire mu 1945-1955 nga Ssematalo II (World War II) awedde. Abantu abaali mu matwaale (colonies) g’ensi za Bulaaya (Europe) mu Africa bwebamala okwetegereza ebyaali mu lutalo, batandika okwegugunga n’okukayanira okwefuga (independence).

Mu East Africa, Abangereeza bayagala okugatta amawanga agaali mu Kenya, Uganda ne Tanzania eza leero, bazimbemu ensi emu eya East Africa. Wabula Ssekabaka Muteesa II yakigaana nga 30 November 1953. Yajjukiza Governor Andrew Cohen nti Abangereza baakola endagaano ne Buganda mu 1894 okugiwa obukuumi nga ensi eyetongodde (protectrate). Era Abaganda baali tebakirizza kugikyusa.  Muteesa bamukwaata kw’olwo nebamutwaala butereevu mu buwanganguse (exile) e Bungereza.

Bungereza yagezaako okusaawo Kabaka omulala, nga eyambibwaako Katikkiro Paulo Kavuma n’abakungu e Mengo, Latima Mpagi ne Matayo Mugwanya, naye Abaganda ababulijjo bekolamu omulimu nebabalemesa. Abangereza bakomyaawo Muteesa mu July wa 1955 era Kavuma, Mugwanya ne Mpagi bagobwa e Mengo.

Ghana bweyafuna obwetwaaze mu 1957, Bungereza yasuubiza okuta amawanga amalala mu 1960-65. Buganda yasalwo mangu ku nsonga eyo era nga 23 September 1960 Olukiiko lwa Buganda lwayisa ekiteeso nti Buganda egenda kwefuga nga 1 January 1961. Balonda akakiiko era nebalagira Katikkiro Mikayiri Kintu akakulembere okutegeka ekirangiriro ekitongole.

Nga 6 October 1960, Katikkiro Kintu yawandiikira Queen mu butongole okumuteeza nti Buganda esazeewo okwefuga. Abangereza baleeta magye ga Queen e Jinja nawalala era nebatisatiisa okugakozesa ssenga Buganda tebisazaamu. Naye nga 31 December 1960, Olukiiko lwa Buganda era lwayisa ekiteeso ekyasalawo okwefuga. Abakiwagira baali 79, abaakiwakanya 8, ate 1 (Abubaker Kakyaama Mayanja) nagamba nti ye talina ludda.

Buganda yalangirira nti yefuze nga 1 January 1961 era yaweereza abakungu okukola enteekateeka z’okuggulawo ebitebe bya embassy mu Bungereza, Egypt, India ne USA.

Bungereza yasomoozebwa nnyo kubanga yali ebuliddwa eky’okukolera ebitundu ebilara ebyaali ebinafu ennyo nga Buganda egenze yokka. Kyebaava basalawo okukola buli kisoboka okubonereza Buganda, ereme kuddayo kugezaako kubaswaaza.

Banyigirizza nnyo Muteesa ne Mengo bagende okuteesa n’ebitundu nga Ankole, Bunyoro, Acholi, Busoga, nebirara, mu Bungereza.  Mu September 1961, emyeezi 8 okuva nga Buganda yefuze, Kabaka n’abakungu be Mengo bagenda e Lancaster mu Bungereza, nga Abangereza bwebabasaba.

Mu Lancestar, ewala okuva awaali Olukiiko lwa Buganda olwalina ennyo omugongo, Abangereza, nga bayambibwaako Emmanuel Bijugo Lumu, Aloysius Darlington Lubowa, Abu Mayanja, Luyimbazi Zaake, ne William Kalema (abamu kubano nga basinziira mu Kampala)  basobola okukaka n’okuwubya Muteesa nakiriza nti Buganda yegatte ku balala okukola Uganda. Wadde nga Katikkiro Kintu yagezaako nnyo okukirwanyisa n’okubalabula obulabe obwakirimu.

Kyewuunye Namayega, endagaano ya 8 October 1962 bulijjo gyetumanyi nti yali yakwefuga kwa Buganda, amazima gali nti yali ya kuwanika mikono (surrender agreement). Ekyaddirira ye kawefuube w’okutugumaaza (propaganda), nti Buganda yasalawo kyeyagalire okuyingira mu Uganda. Biringa bino ebya MOU  Yoweri Museveni  ne Katikkiro Mayiga gyebakaka ku Kabaka Mutebi mu 2013, oluvanyuma nebatandika okutugumaaza nti ebintu bya Buganda ebyabbibwa bikomyeewo.

Okwefuga kwa Uganda

Ebitundu nga 90% obugagga bwa Uganda mu 1962 bwaali mu Buganda era okukulakulana okutono okubaddewo awalala okusinga kuvudde ssente za foreign aid ne bana Uganda okunyaga ebya Buganda nebatwala ewaabwe. Mu ngeri eyo kyetuyita okwefuga kwa Uganda kirabika gwali mukolo gwa Bangereza kukwasa  batali Baganda buyinza okumenya Buganda.

Namayega, nze siraba Baganda kyetufunye mu kwefuga kwa Uganda. Mpozzi okuzibula amaaso g’abamu kuffe netutegeera empalana n’obukyaayi balirwaana baffe byebatulinako. Anti okuva mu 1962, tubalwanidde entalo ze mundu n’ezobyobufuzi. Tubawadde obubudamo ne scholarships. Bo mu kutusasula batunyazeko ettaka lyaffe, batusosodde mu mirimu, batulemesa okukola business, batwavuwazza, batuletedde empisa ez’ekigwenyufu, banafuyizza ebika byaffe, ate batutta buli kakisa kebafuna.

Muto wange, bulira abaana amazima nti Buganda yefuga 31 December 1961 era newambibwa mu ndagaano ya 8 October 1962.

Awangaale Ssabasajja Kabaka

Joe Muyanja

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+