BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze Joe Muyanja. Nsibuka Mukono, mu ssaza lye Kyaggwe era taata wange, jja wange, ne jjajja wa taata bonna bagenzi abagalamidde awo ebbanga ntono okuva olwe Bugerere welukoonera ku luva e Kampala okudda e Lugazi.  Ndi Musajja Muganda eyeddira Nakinsige. Omukadde anzaala ye Muky. Zawedde omulungi owe ffumbe era nga yetulidde awo e Mukono.

Omubiri ggwange guli mu America naye omwoyo gusula Mukono. Ate omutima gukubira ku nsonga ya kwegobako ba nnamawanga abawamba Kabaka waffe nebatabangula ebika ne Ennonno zaffe. Nebatusasulamu ebeera yobwaavu, obujama, okukola gadibe ngalye, endwadde, omululu gwa ssente, obutitiizi, obuteloworeeza, okuggwa ensonyi, obutawemuka, obulyaake nokulagajjalira obuvunanyizibwa bwetulina eri abaana baffe nabazzukulu.

Neebaza nnyo abakulu ba BugandaWatch okumpa omukisa guno mbagabanyizeeko, mmwe abasomi baabwe, ku bintu byentera okuteeka mu email zempandiikira mwanyinaze omuto Namayega, asomesa e Buganda, okumuzimba. Mwanyize naye yakkiriza okugabana na mmwe naye nasaba nti tukozese mannya gaffe ga kika gokka, okwewala ebizibu ku mulimu gwe. Abakulu ba BugandaWatch kino baakikirizza era nebakakasa nti ekyama kyaffe balifa nakyo.

Namayega mbadde muwandiikira emirundi nga 2 oba 3 buli mweezi. Kati nja kuwandiika omulundi gumu buli week, nga emboozi ngiteekamu ebirowoozo byange ku kintu kimu oba bibiri ebikulu byendaba wano mu America, e Buganda oba mu Uganda.  Ebirowoozo byange nga mbyesigamya ku byemmanyi, byensoma, ne byempulira okuva mu nsi zino essatu nendala.

Mu kutendekebwa kwange, nakuguka mu tekinologia wa Data Science naye nsuubira nti munasiima ebiva mu kusoma,  okunonyereza, okuwuliriza, okutunulira nokwebuuza bye nzize nkola ku byafaayo ne ensonga za Buganda okuviira ddala ku mulembe gwomutemu Idi Amin Dada nga ndi mu P 2. Nnamwe mumpabule nokunjigiriza nga muwa ebirowoozo bya mmwe ku baluwa zange.

Ebaluwa zange zijja kufulumanga ku buli lunaku lwa Sunday. Kubanga  ennaku za 8 October 2017 ne 9 October 2017 zakayita, ebaluwa yange esooka, eya 15 October 2017, egenda kukwaata ku nsonga zokwefuga kwa Buganda nokwefuga kwa Uganda.

Awangaale Kabaka

© Joe Muyanja

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+