BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Mu nsi ya Spain, abasibuka mu ekitundu kye Catalonia bali mu ssanyu eritagambika, oluvannyuma lw’ akalulu ak’ekikungo, okusalawo oba betongola, bafuuke eggwanga eryetengeredde. Akalulu kano akabaddewo nga 1 October 2017 kagenze okuggwa nga ebitundu 90% basazeewo nti beekutule ku Spain. Gavumenti ya Spain yafubye nnyo okulemesa nga ekozesa poliisi, omwavudde akasambattuko akalese abantu abasukka mu 800 n’ebisago.

Catalonia bwali bwakabaka obwetongodde okumala emyaka nga 250. Mu mwaka gwa 1469 eyali Nnabakyala w’Obwakabaka bwa Spain, Isabella, yafumbirwa eyali omukulembeze w’ekitundu Oregon, kati ekiyitibwa Catalonia.  Bakkaanya okwegatta nebakola eggwanga eriyitibwa Spain. Emyaka mingi giyise nga bannansi ba Catalonia bagezaako okwekutula ku Spain naye nebalemesebwa. Wabula ku mulundi guno tebajja kudirira okutuusa nga bafunye obwetwaaze, okusinziira ku pulezidenti wa Catalonia, Omw. Carles Puigdemont.

Presidenti wa Catalonia, Carles Puigdemont

 

Ensonga enkulu Catalonia zeewa lwaki erina okwefuga zeefananyiriza ku Baganda zebazze bawa okuva mu 1961, Bungereza bwe yakaka Buganda okuyingira mu kayoola Uganda. Era kirabika ensonga ze zimu mwemwaava n’omulamwa gwa Ttabamiruka mu America owa 2017 ogwagamba nti, Okutema Evvuunike ku Buganda Obw’Enkya. Ezimu ku nsonga ezo ze zino wammanga:

  1. Abaana baabwe bakakibwa okwogera  Spanish (olulimi lwa Spain) kyebagamba nti kinafuyizza nnyo olulimi olwabwe oluyitibwa Catalan.
  2. Bwebawanika bendera yaabwe, ejjayo obulungi ebyafaayo n’obulombolombo bw’eggwanga lyabwe, nga babangoola nti basosoze. Ate nga eya Spain gyebabakaka okuwanika, terimu kintu kyonna kikikirira Catalonia.
  3. Balyamanyizibwa nnyo kubanga ku misolo ogikungaanyizibwa okuva mu Catalania, ekibajjo ekitwaliibwa okukulakulanya ebitundu bya Spain kinene nnyo.
  4. Enkola ya Federo Spain kwetambulira, aba Catalonia tebakoledde, kubanga ebiteeso byebayisa mu lukiiko lwa Catalonia olukulu, gavumenti ya Spain, etuula mu kibuga Madrid, ejungulula bijungulule.

Akalulu ke Catalonia ak’ekikungo kasuubirwa okusomooza Katikkiro Mayiga ne Mengo, olw’enkolagana n’omukwano byebalina nabafuzi ba Uganda abakuumira Buganda ne Kabaka mu buwambe. Mu kiseera kye kimu, akalalulu kano kandy’ongera amaanyi  ne suubi mu Baganda abagamba nti Kabaka, Abataka ne Mengo bonna Uganda yabawamba, era Buganda yetaaga musingi mupya, etambulire ku Nnono n’ebika bya Baganda, wansi wa Kabaka. Ekisinde kya Buganda empya kisinze kumera mu bavubuka ba Nkoba za Mbogo ne mu  Baganda abali mu Diaspora.

Katikkiro wa Buganda, Charles Mayiga

Ebyo nga bikyali bityo, ekibiina ky’eddembe ly’obuntu ekiyitibwa Amnesty International kyagambye nti kirina obujulizi obw’enkukunala nti poliisi ya Spain yakozesezza eryaanyi eriyitiridde ennyo, nga kyekyaviriddeko abafunye ebisago okuba abangi. Bino byayogeddwa Mw. John Dalhuisen, akulira ettabi ly’ekibiina mu Bulaaya (Europe).

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Abantu bonna besazeko, Oba bagala kwesalako. Ne Bungereza eyatuteka gano Amazziii, nayo juuziii yesalako. Kati ffe tulinda ki???

  • Lt Baziira

    Wulira mbu kyandyongere. Kweggamba tetwekakasaa? Kugino Emyaka gyonna jetumaze nga Abantu batubonyabonya nga beyambisa gubendera oguyitibwa Uganda, tukyebuza bwebuza? Ndowooza olaba nti ballii bayina bulli kimu, naye basazewo. banange tudemu amageziiii….