BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Abagobeddwa mu K2 Telecom tebamanyi oba banasasulwa emisaala gyebabanja okuva mu October
Omusasi wa BugandaWatch alondoola ensonga z’abakungu be Mengo okukozesa...
Olukiiko lwa Buganda lutandise okufanana ng’ekanisa z’Abalokole
 Nga 22 January 2018, Katikkiro Mayiga...
Mu December wa 2017 Mayiga yasuubiza nti Kasubi wakuggwa mu 2018, naye abakozi bakeera kunyuma mboozi
Katikkiro Charles Peter Mayiga lweyasemba okulambuza bannamawulire omulimu gw’okuzaawo...
K2 Telecom yaggwa Kiwalabye ne Kawooya Mwebe nebagidduka, Mayiga ayagala Airtel emuweemu kyemuwa
Nga 25 January 2018, BugandaWatch yafuna amawulire okuva mu...

Omu ku bannamateeka abakukuutivu mu Buganda, Omw. Yusuf Nsibambi yakyasanguzza nti bangi ku babaka b’olukiiko lwa Uganda (parliament) abakikirira ebitundu bya Buganda, balimba nti Baganda. So nga Banyarwanda abaasenseera Obuganda, nga beewa amannya n’ebika bya Baganda. Eby’okulabirako byeyawadde mwemuli: Muyanja Ssenyonga ne Ronald Kibuule abe Kyaggwe; Godfrey Kiwanda, Edith Nabakooba ne Simeo Nsubuga abe Ssingo; ne James Kakooza owe Kabula.

Bino Mw. Nsibambi yabigambye akulira akabondo k’ababaka ba NRM mu palamenti ya Uganda, Ruth Nankabirwa, bwebabadde battunka ku pulogulaamu ya CBS FM eyitibwa Palamenti Yaffe.  Pulogulaamu eno eyakubirizibwa Muhamad Nsereko Sebuliba, yaliwo ku lw’omukaaga nga 30 September 2017.

Mu kuddamu, Nankabirwa yagamba nti ye yali takiwulirangako nti abantu abo si Baganda oba  nti bali mu lutalo lwa kuzaawo Chweezi Empire nga bayita mu kusensera n’okunafuya abakulembeze awamu n’amasiga ga Buganda amakulu nga Namulondo n’ebika.

Nsibambi yayongeddeko nti ate abakazi Abanyarwanda bo olutalo balulwaniira ku bitanda nga bayita mu kuganza, okufumbirwa era n’okunafuya Abaganda abali mu bifo ebya waggulu. Yanokoddeyo General Katumba Wamala nga eky’okulabirako eky’Omuganda gwe baawamba obwongo okuyita mu kakodyo ako.

Okusinziira ku kubuliriza BugandaWatch kweyakakola, Nsibambi bye yayogedde ku bagwiira okusenseera Obuganda nga bakozesa ettutumu n’ensimbi, waliwo Abaganda abalala ababadde babye’mulugunyaako naye nga tebawulirwa.

Eky’okulabirako Abaganda mu Ssingo ne Busujju bemulungunya nnyo mu 2016 nga Katikkiro Charles Mayiga anoonyeza Nabakooba ne David Lukyamuzi Kalwanga akalulu bawangule Abaganda. Nnaddala bwe yagambanga abantu be Busujju nti, “Kalwanga ffe e Mengo gwetukakasa nti musajja muwulize eri Kabaka.” Nga akikola okuwa ekifananyi nti Omuganda eyali avuganya ne Kalwanga, Garvin Kasi (mutabani wa Brigadier General Kasirye Ggwanga), ye mujeemu.

BugandaWatch byeyakafuna okuva mu kika ky’Emmamba biraga nti, abazzukulu n’Abataka abamu si basanyufu ku nsonga za Simeo Nsubuga n’abagwiira abalala abakkirizibwa okwenyigira mu nsonga z’ekika ez’omunda olw’okuba balina ettutumu n’ensimbi. Banokoddeyo eky’okulabirako ky’omugenzi Mathias Nsubuga Birekyeeraho, Omunyarwanda eyakozesa ettutumu ne sente eziva ebunayiira n’atuuka n’okufuuka omuwi wa magezi eri Gabunga.

BugandaWatch ekyanonyereza ku Godfrey Kiwanda, okukakasa oba nga ddala muzira Ffumbe nga bwaze agamba abantu era  oba nga abakulembeze mu kika ekyo bayinza okumuteerawo akabega nti obulambe bwe tebuliiko kabuuza nga Mw. Nsibambi bweyagambye.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Naye musaagaa…tetunatandika butandisi, mujja kututegeraaa….!!!!!

  • Lt Baziira

    Bonna Banyarwanda bebajudde mu Biika nemu Mbiiri. Baali balonze ne Ssabalangira omunyarwanda. Kitaloo nyo!!! Ezo zonna plan za Mayiga, ndowowza naye munyarwanda…….