BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Amawulire agaakava e Kasubi Nabulagala mu masiro ga ba Ssekabaka ba Buganda ssi malungi. Nga entabwe eva ku mulimu gw’okuzaawo Muzibu Azaala Mpanga okutambula akasoobo nate. Era nga kizzeewo kubanga abakozi abaziimbi obudde obusinga babumalira mu nnimiro zaabwe ku bwaabwe ze bakola munda mu Masiro.

Mu Agusito wa 2017, Mw. Jonathan Nsubuga, akulira omulimu gw’okuzaawo amasiro, yatuuza abakozi abazimbi n’abalabula obutadda mu nnimiro kulima era n’okwewala okujja ku mulimu nga batamidde (Soma: Kasubi Royal Tombs workers happy after site manager appears from months of hiding to pay them). Naye, okusinziira kubamanyi ebifa e Kasubi, Mw. Nsubuga olwasimbula okuva mu masiro, abakozi abamukakasa nti, “Nga bwotusasudde amabanja, ssebo omulimu tugenda kuguddusa mbiro,” ate nebeddirayo mu nnimiro zaabwe kwelimira. Mungeri yeemu, bangi bakyajja nga batamidde.

Obujeemu bw’abazimbi eri Mw. Jonathan Nsubuga, bunyigiddemu n’Abazaana abazze bakuuma amasiro mu buwangwa okuva mu mwaka 1884. Anti ebibanja by’abwe kwe babadde balimira okumala emyaka egisukka mu 130, abazimbi abaajemeera Mw. Nsubuga nabo kwebalimira. Omusasi wa BugandaWatch yakitegeddeko nti ate n’okubbibwa kw’emmere y’Abazaana okuva obutereevu mu nnimiro z’Abazaana nakwo kweyongedde obungi wabula nga bakyalemeddwa okutegeera ani akikola.

Embeera eri e Kasubi ekontana n’Omuwanika wa Buganda, Mw. Wagwa Nsibirwa, byeyategeeza Olukiiko lwa Buganda mu Julayi wa 2017, nti okumaliriza amasiro ga ba Ssekabaka kijja kuba n’enkizo ku mirimu emilara egiri mu bajeti ya 2017/2018 ey’obuwumbi 74 Mengo gyeyayanjula.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+
  • Lt Baziira

    Nowulira obwononefuu era Obugwagwaa…Tetujja kukirizaa bintu ebyo, Era mwerinde!!!