BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Mutabani w’omumbejja era minisita wa Kabaka eyawummula, Owek. Sewava Sserubiri Walungama yeyabadde omugenyi omukulu ku mukolo  abayizi ba Baganda Nkobazambogo Students Association (BANKOSA), Eden High, Kasangati, mwebakyusirizza obukulembeze. Abayizi era babadde bajaguza emyaka 5 egya Nkobazambogo mu ssomero lyabwe. Mutebi Benon owe Mmamba yeyalayizibbwa kubwa ssentebe, okudda mu bigere bya Senkumba Joel ow’Omusu.

Owek. Sewava Sserubiri

Bweyabadde ayogerako eri abavubuka, Owek. Sserubiri yababuliridde okwewala eby’amasanyu n’okwebuzabuza nga bali mu ssomero, ekibaviriddeko okusoma obubi n’abalala okuwanduka olwo nebafuuka ab’obulabe eri abalala. Yayongeddeko nti abazadde balumwa nnyo okulaba nga abaana baabwe bali mu mbeera etesanyusa ate nga belekereza nnyo okubaweleera.

Mu kuwunzika, Sewava yagambye nti Buganda erina essuubi ddene nnyo mu bavubuka nga bbo. Kubanga bo basomye mu ssomero eddungi, bebateekwa okusomesa abo abatamanyi, okuwolereza abanaku, okuwandiikira abatasobola kwewandiikira n’okwogerera abatalina ddoboozi.

Abamu ku bayizi ba Eden High School

Mu balala abetabye ku mukolo guno ogw’ekitiibwa, kwabaddeko banna Nkobazambogo okuva mu matendekero amalala, abasomesa, awamu n’abazadde ba bayizi.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+