BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Okuva nga 1 September 2017 okutuuka and 4 September 2016, Abaganda abaava mu USA, Canada, United Kingdom ne Buganda bakunganiira mu kabuga Princeton, nebatandika omulimu gwe baayita, Okutema Evvuunike ku Buganda O’bwenkya. Akabuga Princeton kali mu ssaza lya New Jersey erya USA, kilometer nga 80 okuva mu kibuga New York. Abaganda bano baali mu lukungaana lwa Ttabamiruka ’17, olwategekebwa ekibiina kya Baganda ekiyitibwa  Ggwangamujje NY/NJ, Inc.

Omugenyi omukulu mu Ttabamiruka ’17, eyaggulawo  ye Muky. Florence Bagunywa Nkalubo, eyaliko minister mu Gavumenti ya Buganda okumala emyaka egissuka mu 10. Yegatibwaako abogezi abakulu 5.

Mu kwogera kwabwe, Omutaka Nakirembeka, Engineer Alan Waliggo (yasinziira Buganda) ne Dr. Godfrey Luyombya (eyava e London) bakulisa abaali mu lukiiko okukuza emyaka 10 egya Ttabamiruka wa America. Era nebabasibirira entanda n’okubalungamya ku bukulu bw’ennono, obukulu bwa Namulondo, obuvunanyizibwa bwetulina eri abavubuka, awamu n’obusobozi obwekusifu Buganda bwerina.

Abogezi abaamegana obutereevu n’omulamwa gw’olukungaana Okutema Evvuunike ku Buganda O’bwenkya, baali Muky. Nkalubo nabalala 3 abasinziira e Buganda – Dr. Sam Kigongo (omutuuze we New York), Omw. Sewava Sserubiri, Omulongo Wasswa Kigonya ne Mw. Abdul Wagaba.

Muky. Nkalubo

Muky. Nkalubo yannyonnyola embeera enzibu ennyo abantu ba Ssaabasajja gyebawangaliiramu mu nsi yaabwe, naddala abavubuka abalagajariddwa, okilimbimbwa n’okukozesebwa abo bebasaamu obwesige. Wabula yagumya bana Ttabamiruka nti, wadde biri bityo, esuubi tulina kulissa mu bavubuka Abaganda abali eka.

Yatangaaza nti, “Abavubuka baffe be Baganda abasinga ennyo obuungi mu nsi. Ate, mubo, naddala aba Nkoba za Mbogo, mulimu bangi abagezi ddala, abazibu okuliba n’okukozesa ate nga balina talanta ezibasobozesa okuzimbirwaako [Obuganda Obw’Enkya].” Yakubiriza Abaganda abali ebweeru okuwagira emirimu gyonna (projects) egiwunda ebitone by’abavubuka Abaganda (mentoring) n’okubategeka okuwereeza mu Buganda Obw’Enkya.

Dr. Kigongo

Dr. Kigongo eyasinziira Kampala nategeeza Ttabamiruka ’17 nti kati kyeraga lwaatu, “Buganda ggwanga erituuse okujoogebwa, n’okusimulizaako ebisooto.” Yanyonnyola nti, ekituusizza Obuganda mu mbeera eno lye bbula ly’obukulembeze mu Baganda, ku mitendera egy’enjawulo, okuviira ddala wansi ku ntobo. Yajulizza kalimagezi omu eyagamba nti mu lutalo, “Eggye nga lya mbuzi naye ng’omudumizi mpologoma, liwangula eggye ery’empologoma nga ate lyo omudumiizi mbuzi.” Nasomesa nti [obutafanana nga kati] ba Jjajja ffe abaazimba Obuganda, bakozesanga emitego esatu mu kulonda omukulembeze.  Omutego ogusooka gwa mululu – omuntu akulembeeza olubuto lwe, nga takulembera. Ogw’okubiri gwa bugayaavu – omuntu adda mu kuzaanya n’ebyamasanyu nga tabeera mukulembeeze. Omutego ogw’okusatu bwe butitiizi – omuntu atya okubonabona oba enkyukakyuuka teyasobolanga kukulembeera.

Sewava Sserubiri

Ye Mw. Sewava Sserubiri yatandika na kusomesa Nnonno, okuviira ddala mu myaka Abataka ba Buganda lwebawagira Kato Kintu mu ntalo ezagoba Kabaka Bemba mu Buganda.

Yannyonyola nti Abaganda baakyawa Kabaka Bemba lwa kubeera n’akyemalira. Mw. Sserubiri yakikkatiriza nti ensonga esinga obukulu lwaki Abaganda bakkiriza Kato Kintu okubeera Kabaka wabwe [eyasooka mu lulyo lwa Balasangeye] lwakuba nti yakkiriza okufugira mu ndagaano gye yakola n’Abataka mu ssaza lye Busujju, ku kyaalo Nnonno, awali olubiri lwa Kintu, e Magonga.  Okusinziira mu ndagaano eyo (kati eyitibwa Ennono za Buganda), Kabaka tafuga bantu be butereevu era takola oba okweyingiza mu mirimu oba ensonga ez’abantu be obutereevu. Era Ssekabaka Kintu yalina okulonda Katikkiro (Kisolo ow’Engonge) okumukolera ng’olutimbe okukakasa nti Abaganda bafugibwa mu bwenkanya, ng’endagaano y’Ennono bwelagira.

Ku mbeera eriwo mu Buganda, Mw. Sserubiri yasooka kujjukiza nti buli kyogerwako nti kya Uganda leero, kyawebwaayo oba kyanyagibwa ku Buganda. Yagambye nti okuva ku ttaka eryazimbibwaako Ntebbe, Kampala, ebbibiro lya masanyalaze e Njeru, Makerere University ne Mulago Hospital, okutuuka ku waazibwa Parliament, Abaganda be bakkiriza bikozesebwe ku musingi gwa liizi (lease). Ebirara Uganda eze enyaga bunyazi na lyaanyi. Yasomooza omuntu yenna ayogere ekintu ki ekikulu kyonna ekyawebwaayo ebitundu ebitali Buganda mu kukola Uganda.

Ku Buganda Obw’Enkya, mutabani w’omumbejja yagamba nti, tetuyinza kussa muka okutuuka nga ebyaffe tubifunye. Nazzako nti, “Tusinziira wanno mu Ttabamiruka ono nga tulabula nti, ffe okugenda okulwanirira Buganda, tetweetaaga kusaba lutabaalo kuva eri muntu yenna. Kubanga kiri mu nnono yaffe okulwanirira Ssaabasajja Kabaka. Era kiri munnono yaffe okuteseeza Obuganda.” Yakubirizza Abaganda okubeera n’omutima ogugamba nti Buganda yakubeerawo emirembe gyonna, buli kintu ekiri mu Buganda kya Baganda, ettaka lya Buganda lya Baganda, wadde eby’obuggaga byonna mu Buganda bya Baganda.

Yamaliriza ng’ajjukiza Abaganda nti abavubuka bebali ku mwanjo gw’ensi [Buganda] leero. Era yalabula nti, “Tulina okwewala ennyo, obutumala budde nga twogerera mu bantu abatitiizi abatya olutalo. Era mmwe abali mu Ttabamiruka wano mbabulira, waliwo abantu abazze wano okumala obumazi ebiseera, naye nga bwomutuma omulimu gwa luta lumu, tasobola kulutambula.”

Omulongo Wasswa

Mu bigambo bye ebimpimpi, omulongo yayogera ku mugaso omunnene ennyo oguli mu kukuuma empisa zaffe ez’obugunjufu nga tulwanirira Ssaabasajja n’okuzimba Obuganda Obw’Enkya.  Yannyonnyola nti, empisa ez’obugunjufu ziyamba abantu okusemberegana, okumanyagana,n’okuwangana amagezi. Naggumiza nti ba Jjjaffe empisa z’obugunjufu bali baazituusa ku mutindo ogwawagulu ennyo kubanga omuntu bweyabanga n’ekintu kyatekakasa, nga ayogeza gonjebwa nti, “Ekyo sikimanyi”. Nekiwa oyo aba abakimanyi omwagaanya okumuyigiriza.

Omulongo yawunzika nga agamba nti mu Buganda Obw’Enkya tulina okuttusa empisa z’ekigunjufu tuyige okukkiriza okuyiga ne kyetulowooza nti tumanyi. Nagattako nti, “Ekisinze okutta Obuganda, be bantu okulowooza nti bamanyi, ne kyatamanyi n’agamba nti ekyo nkimanyi. Era neyeteeka mu bigere ebikola ekintu ekyo, n’afundikira nga atusudde mu katyabaga.”

Wagaba

Mw. Wagaba ye amannyo yagasimbye ku Buganda okuba mu komera. Yagamba nti, “Banaffe [abali] mu Lukiiko lwa Baganda Olukulu, ba Jjajja ffe Abataka ab’obusolya, n’abali mu (institutions) endala eza Buganda, tebakyasobola kwesigamwaako kutereeza nsi yaffe. Kubanga bali mu komera, mu buwambe. Nabo balinze bununuzi bwaffe.” N’ayongerako nti ffe abali ebweeru tuvunanyizibwa okusalawo ebisaana okubeera mu Buganda obw’Enkya, so si bali abali mu kkomera.

Wagaba yakubirwa emizira mingi bweyagamba nti, wakati mu kununula Baganda, banaffe, omuli ne Kabaka waffe, “Tetusaanye kulinda biragiro kuva gyebali. Kubanga kuba kuduula okubuuza omuwambe nti munange, oyagala nkununule ntya?” Yalabula nti, abanunuzi tulina okwetegekera embeera nti abo abasaana okununulwa, nga ne Ssaabasajja Kabaka mwaali, bayinza okuwakanya ennyo eky’okubatolosa, olw’ensonga nnya.

Ensonga esooka, bayinza okutya nti, nga tumenya ekkomera okubanunula, ekkomera lisobola okubagwiira ne bafiirwa obulamu. Ekirara, bayinza okutya nti tuli batemu ababazinze okutwaala obulamu bwaabwe. Ate ensonga ey’okusatu, bayinza okuwakanya kubanga waliwo abatadde akabundu ku mutwe – eno nga y’ensonga esinga okuba nti yandiba entuufu. Ku nsonga ey’okuna, Wagaba yagamba nti, “Waliwo ne banaffe era abali mu buwambe, abaafuna obukulu mu kkomera, nga bebakunga abasibe okukima amazzi. Abo bayinza okulekaana nga balaba bafiirwa obukulu obwo.”

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+