BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Makubuya yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda nakubiriza Abaganda okulwanyisa eteeta ly’ettaka
Omumyuka wa Katikkiro ow’okusatu era minisita w’ebyamateeka e Mengo,...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Buganda teyefuga nga 8 October 1962
Mwannyinaze Namayega, Nkulamusiza muto wange era nsubiira byonna bigenda bulungi. Naffe...
Omulimu gwa masiro ge Kasubi gudduka, mbu Katikkiro gy’ayagala okuteeka embaga ya Mazaalibwa ga Kabaka
Okusinziira ku mawulire BugandaWatch geyafunye okuva mu masiro ga ba...
Ebaluwa ya Muyanja okuva mu America – Okweyanjula nokwebaza
Ba ssebo ne ba nnyabo abasomi ba BugandaWatch, nze...

Minisita wa Kabaka ow’a bavubuka eyawummula, Owek. Florence  Bagunywa Nkalubo, olwavudde mu lukungaana lwa Ttabamiruka mu America, yetabye ku mukolo gw’okukyusa obukulembeze bwa Baganda Nkobazambogo mu Kampala International University (KIU) Kansanga mu Kyaddondo. Omukolo gwabaddewo nga 16 September 2017 ku ssettendekero lya  KIU. Tebusweke  Ivan  Maswanku ow’Olugave yeyalayizibbwa nga Ssentebe omugya. Yazze mu bigere bya Katongole Ronald eyeddira Ente.

Bweyabadde ayogerako eri  abavubuka, Owek. Bagunywa yategeezeezza nti yayitibwa mu Ttabamiruka wa Ggwangamujje NY/NJ eyaliwo okuva nga 1 September 2017 okutuuka nga 4 September 2017, okwogera ku  kutema evvuunike ku Buganda obw’enkya. Yategeeza nti  olukiiko lwakaanya nti essubi  ly’okuzimba Obuganda Obw’Enkya liri mu bavubuka. N’olw’ensonga eyo, banna Ttabamiruka baasalawo okuwagira abavubuka abakola emirimu egitali gimu egitukira mu Buganda Obw’Enkya.

Abakulembeze ba BANKOSA , KIU

Yawadde abavubuka ba Nkobazambogo amagezi okutandika okukola entegeka z’emirimu enambulukufu mu buwandiike (proposals) ezitukaana n’okuzimba Obuganda Obw’Enkya ate n’okuwa abavubuka obukugu obusasula ku mutindo ogwawaggulu. Nanyonnyola nti proposal eziwa abavubuka obusobozi okuddukanya Obuganda Obw’Enkya awamu n’okunyeeza Namulogo banna Ttabamiruka betegefu okuziwagira n’amanyi.

Mu balala abetabye ku mukolo kuliko, minister wa Kabaka ow’abavubuka eyasooka, Owek. Sewava Sserubiri, Omulangira James Wasajja, omukiise w’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, Owek. Sylvia Kirabira, abazadde ne banna Nkobazambogo okuva ku matendekero amalala.

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+