BugandaWatch
BugandaWatch
Breaking News
Plot to sabotage successful graduation of Nkoba za Mbogo student leaders from local schools
Early in July 2017, BugandaWatch received an email tip from a Buganda...
Katikkiro Mayiga donates financial aid to Museveni’s NRM government
On July 10, 2017, the Katikkiro of Buganda, Charles...
Dr. Kiyingi will imprison investors who buy land that is being grabbed from Baganda today
On July 9, 2017, Dr. Aggrey Kiyingi, who claims...
Kabaka Mutebi opens the 2017 Bika Football Tournament, Ngeye knocks Mbogo out
On July 9, 2017, the Kabaka of Buganda Ronald...

ONLY IN LUGANDA

Abawagizi ba Mayiga bakomye okuyigganya abalwanirira Kabaka

Mbalamusizza mmwenna abasomi ba BugandaWatch era nnebaza Katonda abankumidde mu mbeera zonna.

Mbadde  mbuze okumala akabanga wabula ebigenda mu maaso mu Buganda abamu ku mmwe byemuwulira ensangi zino, bimpalirizza okusituka mbeeko obubaka bwengabanako gyemuli.

Nga  September 28, 2016 abayizi abali mu kibiina Baganda Nkobazambogo Students Association (BANKOSA) bekalakaasa awo mu maaso ga Bulange, nga balaga obutali bumativu bwabwe olwengeri erinnya n’ekitiibwa kya Kabaka bwekitereddwa ku minzaani olwemivuyo gye ttaka egyavaamu n’abantu abamu okutwala Kabaka mu kkooti za Uganda. Ekikolwa ekiweebuula n’okumunafuya erinnya n’obuwangwa bwa Kabaka nga kimulabisa ng’omuntu wabulijjo .

Mu kwekalakaasa, abavubuka ba BANKOSA basaba Katikkiro Charles Peter Mayiga aveeyo alage obuwulize bwe eri Namulondo nga akkiriza nti ebyo byonna ebitatambula bulungi e Mengo yabivunanyizibwako sso ssi Kabaka. Era balabula abawawabira Kabaka mu kkooti za Uganda, okujjayo emisango egyo, wakiri bawawabire buterevu abakungu be Mengo abakola ebitali bituufu.

Ekyewunyisa kwekuba nti, okuva abayizi ba BANKOSA lwebalaga obutali bumativu era n’obumalirivu okulwanirira Kabaka wabwe, Mengo yatandika okubayigganya, nga  ebapatiikako omusango ogw’okuwalampa Katikkiro! Minister wa Buganda ow’ensonga za bavubuka, Mw. Sekabembe yatongooza olutalo luno bweyasindika ekibinja kya “abavubuka ba Mayiga” okugenda mu masomero abekalakaasa mwebasomera babaloope nti “bavuma Katikkiro”. Mw. Sekabembe yakutiira beyatuma okupeeka buli mukulu wa somero omwava omwana eyediima okulwanirira Kabaka amugobe bunnambiro.

Naye, ba nnyabo ne ba ssebo, ekkumi terikyaawa omu. Kaweefube wa Mw. Sekabembe okuyiganya abo abalwanirira ekitiibwa n’erinnya lya Kabaka akyagudde butaka kubanga abakulira ba masomero bagaanyi okusaba kwe.  Abasembyeeyo yabatumye mu  Salaf High School  Namungoona ku lwa October 3, 2016 nga kiduumirwa Hassan Kiyemba ne Matovu Emmanuel, abakulembeeze mu Nkoba za Mbogo Uganda, minisita Ssekabembe gyesaawo, okusobola okuyingiza abatali Baganda mu bibiima bya Baganda. Naye abakulu besomero babawadde amagezi nti nabo baddeyo balwanirire Kabaka.

Ebyo nga bikyali awo, ku lwa  October 4, 2016 Mw. Sekabembe yatuuza olukiiko lwa “abavubuka ba Mayiga” mu Bulange okukola ku nsonga yabavubuka abali mu Buganda Youth Council abawagiira okwekalakaasa okwaliwo ku Bulange nga September 28, 2016. Katikkiro Mayiga mweyasinziira nalagira ssentebe  wa Buganda Youth Council, Mw. Paddy Ssenkungu,  aloondoole nnyo nokulwanyisa keyayise akabinja k’abavubuka abaseketelera obukulembeze bwe. Era Senkungu yawera mu maaso ga Katikkiro nti ekiragiro ajja kukitukiriza  n’obuvumu awatali kumutililira.

Bwenawulidde nti abavubuka nga Paddy Senkungu baweera okulwanyisa oyo alwanilira erinnya n’ekitiibwa kya Kabaka, kyandetedde okwebuuza lwaki Katikkiro Mayiga, eyalayira obutatilira Kabaka azimba ekibinja kya bavubuka Abaganda ekikye ng’omuntu, nabawa ebilagiro okulwanyisa abo abalwanilira Kabaka. Era n’abaganda abangi  abanyigirizibwa olwensonga z’ettaka.

Ba nnyabo ne ba ssebo, lwaki Mw. Mayiga alemereddwa okwanukula ensonga abavubuka zebanokolayo, nasalawo okubalwanyisan’okwonoona ebiseera byaabwe eb’omumaaso, ye yetaase, nebwekiba nga kiyinza  okuleka Kabaka mu mbeera embi eyokuvoolwa nokukyayibwa Abaganda. Era lwaaki wempandikidde bino nga abavubuka abalwanilira Katikkiro beswanta nti betegefu okufufuggaza buli amuwalampa, wadde nga alwanirira Kabaka.

Ssebo Katikkiro, abavubuka abo nze siraba ngeri yonna gyebayinza kukulwanyisa kubanga obujulizzi bwonna bulaga nti obwongo bwaabwe bwonna babutadde ku kulwanilira Kabaka waabwe ne Namulondo. Batandise n’okukujjukiza emirimu n’obuvunanyizibwa bwo eri Kabaka n’Abaganda. Anti omaze myaka ng’oweera nti omuntu yenna amanyiira Kabaka, ogenda kumugwa mu malago. Naye ate Mengo nesirika ng’omuzze gw’okutwaala Kabaka mu kooti za Uganda olw’ensonga z’ettaka gumeze emilandira? Nkusaba ssebo olagire abawagizi bo, bakomye okuyiganya abo abalwanilira ekitiibwa kya Kabaka.

AWANGAALE SSAABASAJJA KABAKA!

Please share this...Share on FacebookTweet about this on TwitterShare on Google+